Omuzannyi wa ttiimu yéssaza Gomba mu mpaka za masaza era owa club ya Wakiso Giants eya Uganda Premier League Kenneth Kimera, alondeddwa banna byamizannyo abegattira mu kibiina kya Real Stars Sports Agency, ng’omuzannyi asinze okucanga endiba mu september wa 2023.
Kenneth Kimera okutuuka ku buwanguzi buno, yateebera Gomba goolo 2 ku mutendera gwa quarterfinal bwebaali bawandulamu Ssingo ku mugatte gwa goolo 4-1, ate mu mwezi gwe gumu yateebye goolo ye eyasoose mu mujoozi gwa Wakiso Giants.
Kenneth Kimera ku buwanguzi amezze banne okubadde Masembe George owa ttiimu yéssaza Bulemeezi ne Dennis Omedi owa club ya Kitara eya Uganda Premier League.
Mu muzannyo gwa Badminton, Husinah Kobugabe yawangudde era amezze Brian Kasirye ne Glayds Mbabazi.
Mu muzannyo gwa Kabaddi, Olivia Nalubega yawangudde, nga amezze Mubaraka Wandeka ne Jovita Lubanga, mu muzannyo gwa Ludo Emmanuel Mubiru yawangudde amezze Nagadya Beth ne Henry Mayanja.
Mu muzannyo gwa Rugby, Massanganzira Isaac yawangudde era amezze Aaron Ofoyrwoth ne Adrian.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe