Ekitongole ekirabirira ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority (KCCA) kyetaaga obuwumbi bwa shs 235 okugula ebyuma ebigaaya kasasiro okukolamu amasanyalaze n’ebintu ebirala, okumalawo embeera y’okutuuma kasasiro mu kifo ekimu.
Mu mbeera eno, KCCA yewadde ebbanga lyamyezi egiri wakati wa 18 ne 24 okuba ng’eguze ebyuma bino
Dorothy Kisaka, akulira ekitongole ki KCCA, asinzidde mu kakiiko ka parliament akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya government ka COSASE, naagamba nti mu kiseera kino, essira KCCA eritadde mu kugula ettaka okuliraana Kampala lya yiika 200, okukungaanyizaawo kasasiro, ng’enteekateeka bwezikolebwa mu bbanga lya myezi 18 ne 24, okugula ekyuuma ekisunsula kasasiro okukolamu amasanyalaze n’ebintu ebirala
Ensisinkano yakakiiko Kano, ekubiriziddwa ssentebe waako omubaka wa Busiro East Owek Medard Lubega Ssegona.
Gyebuvuddeko eggwanga lyagwaamu ekikangabwa abantu abasoba mu 30 bwebaabikkibwa entuumo yakasasiro e Kiteezi mu Wakiso, eyabumbulukuka naaziika amayumba.
Mu mbeera eno bingi byatandiika okuvaayo ebikwaata ku bugayaavu obwaali mu kitongole ki KCCA, obwayogerwako nti bwebwavaako entuumo zakasasiro okutta abantu.
Kuno kwaliko ebbaluwa eyawandiikibwa Daniel Okello director w’ebyobulamu mu KCCA, gyewandiikira executive director wa KCCA ng’amulabula ku mbeera ye Kiteezi, wabula kasasiro naabuumbulukuka nga tewannayita mwezi ng’awandiise ebbaluwa erabula.
Dorothy Kisaka bwabuuziddwa ku bbaluwa Eno nekyeyakola ng’emuwandiikiddwa, agambye nti ekiseera kyeyawandiikirwamu yali Kyankwanzi mu lusirika lwaba minister nabakulira ebitongole bya government, era nti bweyakomawo yagitunulamu naaasaba bekikwatako bamuwe ebyetaagisa.
Ye director Daniel Okello,bwatereddwa ku nninga okubaako kyayogera ku bbaluwa eno, agambye nti embeera Kiteezi gyeyaalimu yali yetaaga okuggalibwa.
Ayongeddeko nti wabula nebweyandiggaliddwawo nga tewali kikoleddwa kukendeeza kasasiro oyo era yali wakubumbulukuka naye kyali tekimanyiddwa nti yali yakubikka ekitundu ekinene bwekityo, ekyatuuka n’okubikka amayumba abantu nebafa.#