Club ya KCCA egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, mu butongole erangiridde nga eguze abazannyi 2 okuli Kwikiriza Shafiq Nana ne Steven Munguchi munteekateeka ey’okuggumiza ttiimu eno okwetegekera season ejja.
Omuzannyi Kwikiriza Shafiq Nana bamuguze okuva mu club ya BUL era eya Uganda Premier League, nga atadde omukono kundagano ya myaka 5 nga wakubazannyira okutuuka mu season ya 2028-29.
Kwikiriza Shafiq wa myaka 20 era muyizi ku ssomero lya JIPRA e Jinja, era yabadde musaale ku club ya BUL eyakutte ekifo eky’okubiri mu Uganda Premier League ewedde ate n’okutuuka ku semifinal ya Uganda Cup season ewedde.
Mungeri yeemu omuzannyi Steven Munguchi KCCA emugye mu club ya UPDF era eya Uganda Premier League era atadde omukono kundagano ya myaka 3, nga agenda kuzannyira KCCA okutuuka mu season ya 2026-27.
Steven Munguchi era yazannyirako club ya URA ne Bright Stars eza Uganda Premier League.
Bino bigidde mu kiseera nga KCCA yakamala okuzza obuggya endagaano y’omukwasi wa goolo Mutwalibi Mugolofa ya myaka emirala 3.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe