Olukiiko oluddukanya ekibuga Kampala olwa KCCA lulonze boodi empya enaddukanya kiraabu y’omupiira ogw’ebigere eya KCCA FC, egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League.
Ekisanja kya boodi eno kya myaka esatu.
Ku olukiiko luno abamu ku babadde ku bboodi enkadde okuli ne Ssentebe Martin Ssekajja bakomezeddwawo ssaako omumyuka we Agrey Asaba.
Peter Kibazo aleeteddwa nga memba omupya, Tom Lwanga eyazannyirako kiraabu eno naye akomezeddwawo ku boodi ne mayor w’e Makindye Ali Kasirye Nganda Mulyanyama.
Lord Mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago era nga ye muyima wa kiraabu ya KCCA FC, agambye nti olukiiko luno balulinamu obwesigwa okutwala club eno mu maaso.
Eddimu eddeno erisoose okubaweebwa kwekusala amagezi okulaba ng’omulimu gw’okuzimba ekisaawe kya kiraabu eno gusigala gugenda mu maaso awatali kuyimirira.