Ekitongole ekirabirira ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority (KCCA) kirabudde abantu bonna abakyesisiggirizza okwetoloola ekifo kye Kiteezi ewaali wayiibwa kasasiro okukyamuka mu bwangu, olw’omuliro ogutandise okumyoka ku kasolya k’entuumu ya kasasiro eyasigalawo.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa KCCA omuliro guno gwandiba nga guvudde ku kirungo kya Methane, ekiva mu nakavundira wa kasasiro.
Abantu abalabuddwa okusingira ddala bebali mu buwaanvu bwa mita 200 ezaatalizibwa okwetoloola kasasiro, ku byalo okuli Lusanje, Kiteetikka ne Kiteezi.
Ebyalo bino bye bimu byakosebwa kasasiro eyabuumbulukuka ku nkomerero y’omwezi gwa July mu 2024 naaziika amayumba g’abantu, abasoba mu 35 nebalugulamu obulamu.
KCCA egamba nti mu kiseera kino tenamanya kiyiinza kuddirira olw’omukka ogutandise okumyoka ku kasasiro, nebasaba abakulembeze abaliraanyeewo okulagira abantu okwamuka ekifo ekyo, ng’ekiwundu tekinasamba ddagala.
Oluvannyuma lw’emyezi 6 okuva kasasiro weyatta abantu, abaakosebwa tebaliyirirwanga, so nga ne KCCA tezuulaanga kifo kituufu walina kuyiibaa kasasiro akuηaanyizibwa mu Kampala.#