Club ya KCCA egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, erangiridde Sergio Daniel Moniz Traguil munnansi wa Portugal ng’omutendesi omuggya owa club eno.
Sergio Daniel Moniz Traguil aweereddwa endagano ya myaka 2 ng’atendeka KCCA.
Azze mu bigere bya Jackson Mayanja Miya Miya abaddewo ng’omutendesi ow’ekiseera wakati w’omwezi gwa April ne May, oluvanyuma lw’okugoba eyali omutendesi Morley Byekwaso.
Omutendesi omuggya atendeseko club eziwera okuli Hearts of Oak eya Ghana, Singida Big Stars eya Tanzania, CD Luanda eya Angola, Vilankulos eya Mozambique, Mirbat SC eya Oman, Kabuscorp SC eya Angola, Township Rollers eya Botswana n’endala.
Sergio Daniel Moniz Traguil alina ebbaluwa ya UEFA License A mu butendesi, agenda kutandika emirimu gya KCCA nga 1 omwezi ogujja ogwa July.
KCCA yakutte ekifo kyakubiri mu Uganda Premier League season ewedde n’obubonero 53 era nga basibaganye ne Vipers eyawangudde liigi eno nga yagisingako goolo 6.
KCCA yakoma okuwangula liigi eno mu 2019.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe