Ssenkulu wa Kampala Capital City Authority Dorothy Kisaka agambye nti enteekateeka z’okuyonja n’okulongoosa Kampala ziri mu ggiya, okutuukana n’omutindo gwa Smart city.
Mu nteekateeka eno, okutandika n’omwezi gwa February 2023 enteekateeka y’okukola enguudo egenda kutandika, era mu myaka esatu gyokka ezisinga zijjakuba ziwedde olwo Kampala abeerere ddala Smart City.
Dorothy Kisaka abadde asisinkanye Ssenkulu wa CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe ku kitebe kya CBS mu Masengere e Mengo.
Asuubizza okunnyikiza enkolagana ya KCCA ne Radio ya Ssaabasajja CBS mu nteekateeka z’okukulaakulanya n’okusitula omutindo gwa Kampala.
Agambye nti CBS ebawadde omwagaanya okuyisaawo eddoboozi lyabwe ku nsonga y’okukulaakulanya ekibuga, era enkolagana eyo erina okweyongera okubaawo.
Mu mbeera yeemu Kisaka era akinogaanyizza nti KCCA terina nsimbi zonna zeeyawadde omugagga John Bosco Muwonge okukkiriza abatembeeyi abaali bakolera ku nguudo, okukolera mu kifo ekyo.
Wabula kyebagala kwekusaawo ebifo ebyenjawulo abatembeeyi bakolereko bave ku nguudo, ekibuga kinyirire.
Ssenkulu wa CBS Omukungu Michael Kawooya Mwebe asabye Mukyala Kisaka agunjeewo n’enkola emanyiddwa nga “Kasero” mu mmotoka zonna kikendeeze ku bamansamansa kasasiro ku nguudo.
Omukungu Kawooya Mwebe ku lwa CBS asuubizza okwongera okukwasizaako KCCA mu byokutumbula omutindo gw’obuyonjo bw’ekibuga Kampala.
Ku nsonga y’obutale mu Kampala, Ssenkulu Dorothy Kisaka agambye nti bannakigwanyizi bonna baabagobamu dda, era kati enzirukanya y’obutale bwonna 16 mu kibuga ekolebwako KCCA.
President Yoweri Kaguta Museveni yalagira KCCA yeddize obuvunaanyizibwa bw’okuddukanya obutale bwonna mu Kampala, oluvannyuma lw’okufuna okwemulugunya okuva mu basuubuzi bamufunampola, nti abaali abalina tender babanyigiriza mu mpooza n’ebirala.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka.