Abakulu mu kitongole kya KCCA balaajanye nti ensimbi ezaabaweereddwa mu mbalirira y’omwaka 2022/2023 ntono nnyo, emirimu mingi zakuzingama.
Mu kiwandiiko ekirambika embalirira y’eggwanga ekyali mu bubage,KCCA yali yaweebwa obuwumbi 559 okutambuza emirimu omwaka ogujja 2022/2023.
Guno omutemwa gubeera gwasaliddwa okuva ku buwumbi 609, KCCA zeyawebwa mu mwaka guno ogunaatera okugwako 2021/2022.
Minister omubeezi owa Kampala Kabuye Kyoffatogabye asinzidde mu kakiiko ka parliament akalondoola ensonga z’obwa President, ng’abadde n’akulira ekitongole ki KCCA Dorothy Kisaka,nga bagala obuwumbi 140 obwakendeezeddwa omwaka guno buzibweko emirimu bwegiba gyakutambula.
Minister Kyoffatogabye agambye nti ekitongole kati kyasigazaawo obuwumbi 419 zokka,era nti singa obuwumbi 140 obwasaliddwako tebuzibwawo, emirimu mingi gigenda kweesiba, nga neba kansala saako abakulembeze abalala abalonde ssi bakufuna misaala.
KCCA yateekateeka obuwumbi 35 okulabirira n’okusasula emisaala gyabakulembeze abalonde mu KCCA, wabula obuwumbi 18 bwokka KCCA bweyawereddwa mu mbalirira y’omwaka ogujja , ekyaleseewo eddibu lya buwumbi 17.
KCCA egamba nti mu kalulu koomwaka oguwedde, waatondebwaawo ebifo byobukulembeze ebirala bingi, omuwendo gwaba Kansala negweyongera.
Wabula omutemwa gw’ensimbi z’okubalabirira n’okubasasula emisaala ggwo tegweyongerako, era bangi boolekedde obutafuna misaala singa embalirira gyebagala teyeyongerako.
Okusinziira ku kiwandiiko ekinyonyola embalirira ya KCCA mu bulambulukufu, ey’omwaka 2022/2023, ku buwumbi 419 KCCA bweyawereddwa, ensimbi ezinaava mu nsawo ya government n’emisolo egikunganyizibwa ziri obuwumbi 280 .
Obuwumbi 139 zakuva mu world bank mu nteekateeka ya KDIIP.
Kinnajjukirwa nti KCCA yatongoza enteekateka nnamutayiika eyokukulakulanya ekibuga eyatuumibwa ‘strategic Plan’ ya myaka 5, ngabuli mwaka gwabyansimbi KCCA yetaaga trillion 1 n’obuwumbi 200 okutuukiriza enteekateeka eno.
Wabula okuva mu mwaka 2022 lweyatongozebwa teri mwaka government lweyali etuukirizza kyeyeeyama.
Abakulu bagamba nti enteekateeka eno okutwaliza awamu, yetaaga trillion 7, ekibuga okufananako ng’ekibuga.