Police oluvannyuma lw’emyaka esatu ng’ eyimirizza enkola ya “kawunyemu” kyaddaaki enkola eno ettukiziddwa buto, ng’emu ku binaayambako okukendeeza ku bubenje bw’okunguudo naddala obuva ku bavugisa ekimama nettamiiro.
Ministry y’ebyobulamu yeyali yalagira police okuyimiriza “kawunyemu” okutya okusaasaanya ekirwadde kya Covi-19 ekyali kizinze eggwanga.
Kawunyemu yali yeetaagisa omuserikale n’omugoba w’ekidduka okusemberegana n’okukozesa omumwa okufuuwa omukka mu kkuuma akapima obungi bw’omwenge omuntu bwaba anywedde.
Embeera eno yali ereetawo obulabe bw’okusaasaanya ekimbe kya lumiimamawuggwe.
Oluvannyuma lw’ekitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu okulangirira nti ekirwadde kino tekikyatiisa nnyo, minisitry y’ebyobulamu eragidde police eddemu okukozesabkawunnyemu, wabula nga ku mulundi guno buli muntu wakufuuwa mu kkuuma kake, okwewala okusaasaanya endwadde.
Dr. Henry Mwebesa owa ministry y’ebyobulamu agambye nti oluvannyuma lw’ensisinkano gyebabaddemu n’abakulu okuva mu ministry y’ebyentambula n’enguudo, ekitongole kya UNRA ne Police, kati police yaddembe okutandika okukozesa kawunyemu bataase ku banna Uganda abatokomokera mu bubenje.
Banna Uganda abakunukiriza mu kikumi buli wiiki bafiira mu bubenje, ng’obusinga buva kukuvugisa kimama n’okuvuga nga batamidde n’obutagoberera mateeka.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka.