Ebyetambula bisanyaladde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka,omugga Katonga gubooze negusalamu oluguudo.
Abasirikale ba Police y’amagye bayiiriddwa ku luguudo, tebakyakkiriza mmotoka yonna kusala.
Katonga awaguzza ng’obudde busaasaana ku lunaku lwa thursday, wabula buli ssaawa eyita amazzi geyongera bungi.
Emmotoka nnyingi zikwatiridde ku luguudo eziva e Kampala n’eziva e Masaka tewakyali mmotoka eyita.
Ennyumba eziwerako zibulidde mu mazzi.
Emiti gy’amasannyalaze nagyo giri ku bwerinde.#