Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde bannabitone amagezi babigatteko omutindo nga babifuula ebyamakulu, emyaka g’Obuvubuka gireme kubafa busa.
Katikkiro agamba nti emyaka gy’Obuvubuka gyegyokka egiwa omuntu ekifaananyi ekituufu kyanabeera mubukadde, omuli okusalawo oba anabonaabona oba anaaba mu bulamu obweyagaza.
Katikkiro abadde asisinkanye bannabitone era bannamawulire Ssendegeya Muhammed Byayi ne Munnabuddu Lukenge Sharif mu Bulange e Mengo, nga beetegekera okutongoza olutambi lw’Oluyimba lwabwe NDYA ZANGE, okunabeera ku Kenlon Hotel e Mengo nga 16.9.2023.
Katikiro abawadde amagezi okukozesa omukisa gwebalina, bayimbe ennyimba ezizimba eggwanga, olwo ensi ebaagale era ebawagire.
Munnabuddu Lukenge Sharif ne Ssendegeya beebazizza Ssaabasajja Kabaka olwomwagaanya gweyabawa ku Radio ye, era nebeebaza bakamabaabwe olwokubaagala, nebasaba bannakampala ne Uganda yonna babawagire mu kuyitibwa kwabwe kuno okw’okuyimba.
Okuyingira mu Kivulu Ndya Zange kwa 20,000, 50,000 VIP, songa emmeeza ya mitwaalo 50.
Bisakiddwa: Kato Denis