Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde ku muwendo gw’ababaka ba parliament ya Uganda oguli waggulu ennyo, gwagambye nti gwongera kunyigiriza ggwanga mu byenfuna n’okulikuumira emabega.
Abadde yeetabye mu kitambiro kya mmisa eky’Amazuukira g’Omwana wa Katonda mu Lutikko ya Kasana Luweero.
Katikkiro agambye nti buli munnauganda alina ebibuuzo bingi byalina okwebuuza ku nsaasaanya y’ensimbi mu Parliament, nga bitandikira ku muwendo gw’ababaka 529, ku bantu obukadde 44 Uganda bwerina.
Ekitegeeza nti buli bantu emitwalo munaana balina omubaka omu.
Agamba nti bwogeraageranya ne India erina abantu akawumbi k’abantu 1.n’obukadde 400 erimu ababaka 630, ekitegeeza nti abantu obukadde 2.2m bulina omubaka omu.
Awadde amagezi nti wasaana wassibwewo akakiiko aketengeredde kekaba kavunaanyizibwa ku ngereka y’emusaala n’ensako y’abakozi mu bitongole byonna omuli parliament, essiga effuzi n’eddamuzi, okukendeeza ku muze gw’ebitongole ebimu okwegabira ensimbi empitirivu n’okunyuunyunta bannauganda.
Katikkiro era yebuziizza oba ng’amateeka parliament ya Uganda geyisa, oba nga geego getwetaaga eggwanga lyegetaaga okuggya abantu mu bwavu okufuula Uganda ensi eyeyagaza.
Ebyo nga biri bityo, Kamalabyonna atenderezza essaza lya Kasana Luweero eritudde mu ssaza Bulemeezi, olw’Amaanyi agassiddwa mu nteekateeka z’Obwakabaka ez’okwezza engulu mu byenkulaakulana.
Katikkiro agambye nti essaza lino lijjumbidde nnyo entekateeka ya Mwaanyi Terimba, era nga abantu ba Kabaka baakomya dda okwekubagiza.
Katikkiro agambye nti okwekubagiza mu buli mbeera kukuumira abantu emabega, nagamba nti ewali okusoomoozebwa obudde mubumalire mu kunoonya ngeri yakubivuunuka.
Katikkiro mungeri eyenjawulo asabye abantu ba Kabaka mu Buganda ne Uganda yonna okwefumiitiriza ku bubaka bwa Ssaabasajja Kabaka obw’Amazuukira, naasaba bonna abaayogeddwaako nga beemanyi bakyuuse mu nkola.
Omusumba wa Kasana Luweero KItaffe Lawrence Mukasa nga yaakulembeddemu ekitambiro ky’Emmisa y’Amazuukira asabye abantu ba Katonda okusigala nga bakola ebikolwa by’Obwa Katonda ekiseera kyonna.
Omwami wa Ssaabasajja Kabaka akulembera essaza Bulemeezi Kangaawo Ronald Mulondo, asinzidde mu mmisa eno naakunga abantu ba Kabaka okugula emijoozi gy’emisinde gy’Amazaalibwa ga Beene egigenda okubaawo nga 7 April,2024, olwo babeere basaale mu kaweefube w’Okumegga Mukenenya.
Bisakiddwa: Kato Denis