Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga azeemu okujjukiza banna Uganda okusoosowaza n’okuteeka amaanyi ku byenjigiriza, kubanga ensi ekyuuka ku misinde gyawaggulu, yetaaga abantu abayivu.
Katikiro Mayiga agamba nti ku mulembe guno abanaawangula ensi basaanye okuba n’obuyigirize obumala,n’okubeera nga bafaayo okunoonyereza ku bintu ebyenjawulo.
Abadde aggulawo ekisulo ky’abayizi abalenzi ekya Austraria House ku somero lya Kings College Buddo mu Ssaza Busiro .
Agambye nti technologia gy’akoma okukula, n’enkola y’ebintu ekyuka. N’olwekyo abamuganyulwamu balina okusoma n’okumanya engeri gyebasobola okumukozesa okusitula ebintu ebibeetoolodde.
Mu ngeri yeemu Katikkiro akalaatiidde abakulira Amasomero okukuuma ebyafaayo nga basomesa ennimi ennansi omuli n’oluganda saako obutakugira bayizi kwogera nnimi zabwe ennansi bakule nga bamanyi ebibakwatako.
Wasooseewo okusaba okukulembeddwamu Omulabirizi we Namirembe Moses Banja, eyebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw’okuwaayo ettaka okwazimbibwa essomero lya Kings College Buddo, nti kwaali kwolesebwa Kunene, kubanga kwaleeta ekitangala mu Buganda ne Uganda.
Omukulu we Somero Kings College Buddo Can John Fred Kazibwe yeyamye nti bakwongera amaanyi mukubangula Abayizi nookubawa obukugu okuvuganya munsi ejjudde okusoomozebwa .
Omukolo gwetabidwaako Omumyuka wa Ow’okubiri Owekitibwa Robert Waggwa Nsibirwa, Omukubiriza wolukiiko Lwa Buganda Owekitibwa Patrick luwagga Mugumbule , Minister w’ebyenjigiriza Owek. Cotilida Nakate Kikomeko, n’Omulabirizi we Namirembe eyawummula Wilberforce Kityo Luwarira.
Sebwana Charles Kiberu Kisiliiza, Omubaka wa Busiro East Madard Lubega Ssegona , Ssenkulu wa Cbs Omuk Micheal Kawooya Mwebe , Ssenkulu wa BLB Omuk Simon Kaboggoza , Omuwanika wa Nkuluze Omuk John Kitenda n’abalala babaddewo.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius