Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu mu Buganda ne Uganda yonna okuteeka mu nkola entekateeka za Magulunnyondo ez’Okweggya mu bwavu, nga bayita mu kulima okulunda n’okwettanira emyooleso bafune obukugu mu byebakola.
Abadde aggulawo Omwooleso gwa CBS PEWOSA Nsindika Njake 2024 mu Lubiri e Mengo.
Katikkiro yeebazizza Radio ya Ssemunywa CBS olwokuzibula bannansi amaaso, netandikawo Omwooleso ogujjuddemu ebyokuyiga ebingi.
Katikkiro mungeri yeemu asabye aboolesi okulowooza ku kusiga ensimbi mu bintu ebitaakiriza Obutondebwensi, omuli okusimba emiti eginaamalawo ebikka ebikyafu mu bwengula,okwettanira enkola ya tekinologiya bongere ku mutindo gwebyo byebakola.
Ssenkulu wa Radio CBS Omuk Michael Kawooya Mweebe ategeezezza nti Omwoleso gwa CBS PEWOSA Nsindika Njake gutuuse ku mutendera ogwensi yonna olw’Aboolesi abeyongedde obungi okuva emitala w’Amayanja.
Ssentebe wa Boodi ya CBS PEWOSA Nsindika Njake Omuk David Baalaaka, agambye nti ebibala by’Omwooleso guno byonna bitukiddwako olw’okwolesebwa kwa Ssaabasajja ng’ayagala ebyenfuna by’Abantube bisitulwe.
Ssentebe w’Entekateeka z’Omwooleso guno Omuk Saulo Katumba, ategeezezza nti newankubadde bannamakolero okuva ebweeru wa Uganda beyongedde mu mwooleso, bannamakolero abaakuno nabo bongedde okwoolesa obukugu, nga bagatta Omutindo ku byebakola.
Omwooleso guno gujjumbiddwa kampuni entono n’ennene omuli Quality Chemicals Uganda ltd, Uganda Printing and Publishing Company, Simba Automotive, Haujue, Cfao Motors, Kabaka Foundation, Car and General, National Drug Authority, Movit, NSSF, Insurance Regulatory Authority, Deposit protection fund of Uganda,CHINT n’endala.
Mu balala abetabyeemu mulimu ministry y’ensonga zomunda mu ggwanga ekola ku nsonga za passport, URA, Gombe medical services n’endala.
Bisakiddwa: Kato Denis