• Latest
  • Trending
  • All

Katikkiro Mayiga alambise ku mbeera bweyimiridde mu Buganda – enkola ya Situla omutindo ewa essuubi

May 4, 2026
Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we

Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we

May 15, 2026
Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala

Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala

May 15, 2026
Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo

Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo

May 15, 2026
Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco

Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco

May 14, 2026
Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

May 14, 2026
Okuddamu okulonda omubaka omukyala ow’e Kalangala – NUP emalirizza okukwata empapula z’abegwanyiza kaadi y’ekibiina

Okuddamu okulonda omubaka omukyala ow’e Kalangala – NUP emalirizza okukwata empapula z’abegwanyiza kaadi y’ekibiina

May 14, 2026
Omulamuzi Moses Kawumi Kazibwe alondeddwa okufuuka Omumyuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga

Omulamuzi Moses Kawumi Kazibwe alondeddwa okufuuka Omumyuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga

May 14, 2026
Katikkiro Mayiga yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumwesiga namukwasa Ddamula – ajaguzza emyaka 13

Katikkiro Mayiga yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumwesiga namukwasa Ddamula – ajaguzza emyaka 13

May 13, 2026
Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 batandise okukuba ebirayiro – bali 529

Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 batandise okukuba ebirayiro – bali 529

May 13, 2026
Mawokota ereese Richard Malinga ng’omutendesi omuggya – enoonya kikopo kyakuna mu mpaka z’amasaza 2026

Mawokota ereese Richard Malinga ng’omutendesi omuggya – enoonya kikopo kyakuna mu mpaka z’amasaza 2026

May 13, 2026
President Museveni alayiziddwa ku kisanja ekyomusanvu 2026/2031 – alangiridde nti kisanja no sleep no corruption

President Museveni alayiziddwa ku kisanja ekyomusanvu 2026/2031 – alangiridde nti kisanja no sleep no corruption

May 12, 2026
Yogaayoga Katikkiro Charles Peter Mayiga okuweza emyaka 13 ng’okuuma Ddamula

Yogaayoga Katikkiro Charles Peter Mayiga okuweza emyaka 13 ng’okuuma Ddamula

May 12, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Katikkiro Mayiga alambise ku mbeera bweyimiridde mu Buganda – enkola ya Situla omutindo ewa essuubi

by Namubiru Juliet
May 4, 2026
in BUGANDA
0 0
0
0
SHARES
33
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

 

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ayanjudde embeera nga bweyimiridde mu Bwakabaka bwa Buganda, nga yesigamye ku nteekateeka ya ‘Situla Omutindo’ ezimbiddwa ku mising 6.

 

Katikkiro ayanjulidde olukiiko nti Nnyininsi Sseggwanga Musota Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II gyali alamula Obuganda, era ng’Obuganda bwajaguzza amazaalibwa ge ag’emyaka 71.

Agambye nti okuva nga 3 May, 2025, Omuteregga alabiseeko eri Obuganda ku mikolo emitongole emirundi 3, omuli Okuggalawo empaka z’omupiira gw’amasaza nga 1 November, 2025, mu Nkuuka ya CBS nga 31 December, okuokuggalawo 2025 n’okuggulawo omwaka 2026, saako okuwuubira abaddusi ku misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka age 71, nga 12 April, 2026 mu lubiri e Mmengo.

Emiramwa 6 egya Situla omutindo kuliko  eby’obulimi, eby’eobulamu, ebyenjigiriza,obukulembeze, amaka,n’ebyobusuubuzi.

Eby’obulamu:

Katikkiro akubirizza abantu okufaayo eri obulamu bwabwe kinnoomu, nga balya emmere ey’ekigero, erimu ebiriisa, ate n’okukola dduyiro.

Radio CBS Fm eri ku mulimu gw’okusonda ensimbi okuzimba ekifo awajjanjabirwa abagudde ku bubenje mu ddwaliro e Nkozi ku luduudo oluva e Kampala okudda e Masaka.

Katikkiro agambye nti Omwaka oguwedde 2025  ensimbi obukadde 435 ezaava mu kyeggulo kya Kaliisoliiso, zezaaweebwayo mu nkolagana ya bannamikago aba Rotary, Centenary bank ne MTN Uganda.

Waliwo enteekateeka egenda mu maaso Obwakabaka okufuna eddwaliro eriseeyeeya ku mazzi olwo abantu ku bizinga bafune obujjanjabi obwetaagisa. Enteekateeka eno ewomeddwamu omutwe aba Rotary mu Nothern Califonia.

Ensiisira z’ebyobulamu zikoleddwa ekitongole kya Kabaka Foundation era zakugenda mu maaso, okuziimba amalwaliro mu masaza, n’okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya.

Ebyenjigiriza;

Obwakabaka bwatandise amasomero ga Nursery ag’abaana abato agawera 20 mu Masaza ga Buganda.

Katikkiro agambye nti enteekateeka eno yatuukibwako oluvannyuma lwa alipoota ezaafuluma eziraga nti Uganda yesiinga amasomero amatono ag’abaana abato abaakatandika okusoma, bwogerageranya n’amawanga amalala okul Tanzania, Kenya ne Rwanda.

Ettendekero lya Buganda ery’ebyemikono erya Kasawo Institute lussiddwako essira lituuke ku ssa eriweesa Kabaka ekitiibwa.

Muteesa 1 Royal University yafuna charter era embeera y’ebyenjigiriza yeyongedde okutereera. Muteesa I era yawangudde n’ekikopo ky’omupiira ogwa zi University mu Uganda.

Obukulembeze obuluηamu;

Buli mukulembeze alina okumanya emirimu gye, bwoba tosobola kwekubiriza ng’omukulembeze obeera tosaanidde kubeera mu kifo ekyo.  Abakulembeze balina okubeera mu makakkalabizo, okwewala okwekwasa obusongasonga kuba tekiriimu makulu, kisobole okuwa abakulemberwa eky’okulabirako ekituufu.

Amaka;

Amaka mu Buganda galina okuteekebwateekebwa mu ngeri ey’omutindo, nga gabeera ne kabuyonjo, akatandaalo, emmere ey’okulya n’okutundako, abaana okubeera n’ebyokwambala engoye n’engatto, okulembeka amazzi, okugoba ebisooto mu luggya nga mussibwamu obuggyo n’ebirala.

Eby’obulimi;

Katikkiro agambye nti enkola ya mmwanyi terimba evuddemu ebibala bingi, ekyeyolekedde mu byalo ebyanjawulo byalambudde, abantu gyebajjumbidde okulima emmwanyi okusitula embeera y’obulamu bwabwe.

Awadde ey’okulabirako eky’ekitundu kye Kasensero mu Buddu, gy’abadde yakalambula embeera gyeyasanzeeyo nga yeyagaza, abantu batandise okuzimba ennyumba ez’omuziinzi okuva mu mmwanyi, abaana basoma, balina amasannyalaze g’amaanyi g’enjuba, abaana bambala engatto n’ebirala.

Eby’obusuubuzi;

Katikkiro agambye nti Obwakabaka bwatondawo ekitongole kya Buganda Chamber of Commerce nekigendererwa eky’okuyambako abasuubuzi okusitula omutindo mu busuubuzi, okutunda eby’amaguzi ebweru wa Uganda, n’okutandikawo amakolero.

 

Mu ngeri yeemu Katikkiro ayogedde ku nsonga endala ezigenda mu maaso mu ggwanga:

 

Abaana 4 abaatemulwa e Ggaba;

Katikkiro asaasidde abazadde b’abaana abaatemulwa ku kifo ekirabirira abaana ekya Ggaba Early Childhood Development Centre, omutemu Christopher Okello Onyum mweyasanjagira abaana 4 abali wakati w’omwak 1 ne 3.

Ettemu lyaliwo nga 02 April,2026.

Onyum yakwatibwa era naatandika okuwerennemba n’emisango okumala ennaku 28 nga kooti etuula e Ggaba gyeyaddiza emisango.

Kooti yamusingisa omusango, era nga 30 April,2026 yamusalira ekibonerezo kyakufa.

Katikkiro agambye nti omusango guno gwalimu eky’okuyiga, nti emisango gyisaanye giwozesebwe mu budde, okutebenkeza emitima gy’abantu, n’okuziyiza okutwalira amateeka mu ngalo.

Akalulu ka bonna 2026;

Katikkiro  agambye nti wadde okulonda abakulembeze okwaliwo nga 15 January,2026 n’ennaku endala ezaddirira nti wadde kwali kutambudde bulungi, naye waliwo ebitaagenda bulungi.

Agambye nti okulonda kwasaasanirwa obunkenke, ssaako emmotoka ennwanyi eza mmamba ezaayibwa mu bitundu ebyenjawulo nga zibeera zetala buli wamu awamu n’amagye , obutambi obwayitiηana nga bulaga nti okulonda kwalimu okucanga obululu ekyatuusa n’okulangirira ku buwanguzi ate abataawangula.

Mu mbeera yeemu ayogedde ku mbeera y’abebyokwerinda okukuba abantu embooko, awatali kutaliza Bannamawulire, okugaana abesimbyewo okukuba enkuηaana ezisaba akalulu n’ebirala.

Wabula agamba nti eky’okulonda nga bwe byaggwa  obunkenke busaana okumalibwawo mu bantu, abaakwatibwa nebasimbibwa mu makomera basaana bayimbulwe, abalala batwalibwe mu kkooti bawozesebwe.

Katikkiro agambye nti awatali butebenkevu bwa namaddala tewaba nkulaakulana, kubanga  buli omu abeera yekengera munne.

Sovereignty bill

Katikkiro wa Buganda  akkaatirizza nti Obwakabaka bwa Buganda bwawaddeyo ekiwandiiko kya miko mukaaga nga kirimu ensonga 9, kyakwasiddwa  Ssaabawolereza wa government eyawakati nga kirambika Buganda weyimiridde ku bbago lino.

“Ebbago eryo bweriyisibwa nga bweriri, lijja kulemesa enteekateeka z’Obbwakabaka nnyingi omuli; Oluwalo, Obuvujjirizi obuva ebweru , okusima enzizi mu Buganda, n’okutulemesa okwogera ku ebyo government byeba ereese ‘ Policy’, Kale tusaba baleme kuliyisa”

 

Omusolo
Katikkiro agambye nti  shs 200 ebyayongeddwa ku musolo gw’amafuta gwakukosa ffenna bannauganda,  kubanga ebisale by’ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo bijja kulinnya, bwatyo n’asaba government okulaba ng’emisolo egikuηaanyizibwa gikola ebyo ebirabwako, olwo abantu bajja kuwa omusolo nga beeyagalidde.

Okusenda abantu ku nguudo;

Katikkiro agambye nti  ebibuga kirungi okubitereeza, kyokka ba mufuna mpola basaana okufunirwa ebifo webasaana okukolera, nga biteekeddwateekeddwa bulungi.

Agambye nti kikyamu okulinda abantu nebamala okuzimba ubuyumba bwabwe mwebakolera ate nebusaanyizibwawo.

Anokoddeyo abatunda eby’okulya, n’agamba nti ebifo byabwe ssinga biteekebwateekebwa bulungi biyinza okusikiriza abalambuzi olwo eggwanga ne lifunamu ensimbi, nabo abasuubuzi nebafunamu ekiwera okwekulaakulanya.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we
  • Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala
  • Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo
  • Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco
  • Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist