Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde nti Uganda tegenda kutuuka ku mutendera gw’Amawanga agali yaddeyaddeko, nga Omutindo gw’Ebyobulamu n’Obuweereza obwenjawulo mu bannansi bikyali byakibogwe.
Katikkiro agambye nti ebitongole ebyenjawulo bitadde essira kukusomesa abantu okwewala endwadde, nti naye government erina ekkatala ery’okusaawo obujanjabi obw’omutindo eri bannansi bonna.
Katikkiro abadde asisinkanye abakulira eddwaliro lya Kitovu Hospital ababadde bazze okumwanjulira enteekateeka y’Okuzimba ekifo awaterekebwa Omusaayi, nga kigenda kuwemmenta Obukadde bwa shilling za Uganda 980.
Owomumbuga mungeri eyenjawulo yeebazizza amalwaliro gonna agakola omulimu gw’Okutaasa obulamu bw’abantu abalwadde n’abagudde ku bubenje, era naasaba ensonga ezikwaatagana ku musaayi zisoosowazibwenga.
Ssentebe wa boodi y’eddwaliro lya Kitovu Rev father Simon Peter Kamulegeya yebazizza Beene olwobuwagizi bwazze awa abantube mu ggwanga lyonna, omuli obukadde n’Obukadde bw’ensimbi ezizze zikozesebwa okulwanyisa Fisitula mu bakyala bannakazadde.
Akulira ly’ekitovu Dr Lumala Alfred agambye nti etterekero ly’omusaayi lyebagala okuzimba ku ddwaliro e Kitovu singa linaaba liwedde ,lyakukendeeza ku ngendo empanvu zibabadde bavuga okunona Omusaayi mu Kampala.
Bisakiddwa: Kato Denis