Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abakozesa enguudo okukendeeza endiima n’okuvugisa obuvunaanyizibwa, era n’asaba nebekikwatako okukozesa ennimi abantu zebategeera ku bupadde bw’okunguudo okwewala obubenje
Abadde yeetabye ku kyeggulo kya Kaliisoliiso ekimanyiddwa nga Kaliisoliiso dinner ku Speak Resort hotel Munyonyo.
Kigendereddwaamu okusonda ensimbi ez’Okumaliriza okuzimba ekifo awajjanjabirwa abagudde ku bubenje, ku ddwaliro lye Nkozi.
Katikkiro agambye nti ssinga abantu bamanyisibwa ku kyebalina okukola mu nnimi zebategeera okwetoloola eggwanga, obubenje bwakukendeerera ddala.
Katikkiro alabudde abagoba b’Ebidduka ku bulagajjavu obusukkiridde, obutamanya mateeka agafuga enguudo, bagambye nti basaanye okulwanyisibwa mu bwangu ddala.
Ssabasumba w’Essaza ekkuku erya Kampala Kitaffe Paul Ssemogerere yeebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, olw’Okusiima Radio ye neekulemberamu eddimu ly’Okudduukirira abagudde ku bubenje, kyokka naasaba abagoba b’Ebidduka obuteesigulira ku kifo kino nebavugisa effujjo.
Ssenkulu wa Centenary Bank abavujjirizi abakulu aba Kaliisoliiso dinner Fabian Kassi ku lwa bannamikago bonna, yeeyamye okusigala nga awagira entekateeka eno ne bannamikago abalala okutuusa ng’egguse.
Munnarotary Jjooga Ssebukulu ategeezezza nti ensimbi ezikyetaagisa okumaliriza Omulimu gw’Okuzimba ekifo awajjanjabirwa abagudde ku bubenje zikyaali nyingi ddala, naye nga kino oluggwa waliwo ekirala ekigenda okussibwako essira.
Ssenkulu wa CBS Omuk Michael Kawooya Mweebe akkaatirizza nti ekimu ku bigendererwa bya Radio ya Ssaabasajja okuyambako abantu mu ngeri ezenjawulo kituukiriziddwa, omuli n’okufa ku bulamu bw’abantu n’enkulaakulana yabwe.
Akukira ebiweerezebwa ku Mpewo za CBS Abbey Mukiibi Nkaaga ku lwa banne bonna bwebakola Program Kalisoliiso ku CBS 88.8 buli lunaku okuva monday okutuuka Friday ku ssaawa emu n’ekitundu okutuuka ku bbiri, yebazizza abawuliriza olw’Omukwano gwebalina eri CBS, ogubasobozesezza okwenyigira mu kutaasa ababa bagudde ku bubenje nga basonda ensimbi.
Dr Criscent Tumuhayise akulira eddwaliro lya Nkozi Hospital wamu n’Omubaka Omukyaala owa akiikirira Mpigi mu Lukiiko lw’eggwanga Olukulu Teddy Nambooze , beyanzizza Beene olw’okufa ku Bantube ekyenkanidde awo, ng’ayita mu kusitula Omutindo gw’ebyobulamu.
Katikkiro nga ali wamu n’Abantu ba Kabaka oluvannyuma yeetabye mu kusanyusa abantu ,bwavuganyizza mu kanyomero Akaawakati ne Motto y’Amaka.
Ekyeggulo kino kyetabiddwaako Omumyuuka owokubiri owa Katikkiro Owek Robert Wagwa Nsibirwa, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwagga Mugumbule n’Omumyuukawe Owek Ahmed Lwasa, ba ssenkulu b’ebitongole by’Obwakabaka byonna, minister w’Ebyentambula mu government eyawakati,Gen Edward Katumba Wamala,Loodi Meeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago,ssenkulu wa KCCA owekiseera Frank Nyakaana Rusa n’Ebikonge ebirala bingi.
Ebifaananyi: MK Musa