Government esazeewo okutuuza olukiiko olwa wamu olw’abakulembeze b’ebitundu ebiriraanye ekibuga ekikulu eky’eggwanga, basalire wamu amagezi ku ngeri y’okukwatamu ekizibu kya Kasasiro oluvannyuma lw’ekifo kye Kiteezi okujjula kasasiro naziika abantu abasoba mu 30.
Olukiiko luno lugenda kwetabwamu abakulembeze ba Kampala, Wakiso ne Mukono, saako ministry ya Kampala, eya government ez’ebitundu,ey’obutonde bw’ensi n’eyamasannyalaze n’obugagga obw’ensino.
Minister wa government ez’ebitundu Raphael Magyezi agamba nti ensonga y’akasasiro ebatuuza bufofofo, era ng’olukiiko olugenda okutuula leero nga 21 August,2024, okufuna ebirowoozo eby’okufuula kasasiro ekyomugaso.
Bagenda kutunuulira Kampuni eziwerako ezigenda okuweebwa eddimu eryokukola ebintu ebyomugaso okuva mu kasasiro.
Minister Magyezi era agamba nti ekitanudde ministry ya government ez’ebitundu okwetaba munteekateeka ye Kiteezi, kwekutaasa ebibuga ebirala naddala ebikyali ebiggya ku ngeri esaanye okukwatamu kasasiro.
Bisakiddwa: Edith Nabagereka