Munna NUP abadde kansala we Kazo Angola A Yakubu Yusuf Kiggundu aziikiddwa.
Kansala Yakubu Yusufu Kiggundu yabadde ne banne abalala ne bannamawulire nga bagenda mu kakuyege w’okunoonyeza munna NUP akalulu mu Omoro Simon Toliit nebagwa ku kabenje.
Babiri baafiiriddewo okuli Kiggundu ne Denis Waiswa ayavuganyako ku kifo ky’omubaka wa Iganga municipality, ate abalala bapooca n’obuvune okuli ne munnamawulire wa BBS terefayina Amon Kitaamirike.
Wabaddewo olutuula olw’enjawulo olwa kanso ye Kawempe okujjukira emirimu gya Kansala Yacob Kiggundu.
Oluvannyuma aziikiddwa ku kyalo Lokole Bombo mu Luweero.
President wa NUP Robert Kyagulanyi n’akulira oludda oluvuganya government mu parliament Mathius Mpuuga, ssabawandiisi David Lubongoya n’abakaka ba parliament bangi betabye mu kuziika, nebasaasira aboluganda ne bannakibiina era nebabasaba obutagwamu suubi.
Abalala abalwadde abaabadde ababadde baddusiddwa mu ddwaliro lye Atutur okufuna obujanjabi obusookerwako baleeteddwa mu ddwaliro lye Mengo okwongera okujanjabibwa.