Omusolo oguweza trilion 2 nobuwumbi 800 mu mwaka gw’ebyensimbi guno 2022/2023 government gweyasazeewo okufiirwa, mu nteekateeka yaayo eyokusonyiwa kampuni n’ebitongole ebitali bimu omusolo.
Okusinziira ku Senkulu wa Uganda Revenue Authority John Rujoki Musinguzi, ebitongole ne kampuni ezasonyiyibwa omusolo ziwera 1,810 nga kuliko sacco 1,289, enzikiriza z’eddiini 33 ebibiina byobwannakyeewa 188.
Waliwo ne kampuni ezaasaba okusonyiyibwa omusolo nga bino kuliko Zenitaka -Hyundai Joint Ventures obukadde 725 ogwa PAYE saako omusolo gwa Withholding Tax obuwumbi 11
Kampuni ya Brookside Limited nayo yasaba okugisonyiwa omusolo gwa buwumbi 8 ogujjibwa ku magoba kampuni gekoze (Corporation Tax ) ne St Mary’s Hospital eyasaba okugisonyiwa omusolo gwa bukadde 282.
Kampuni endala kuliko Finasi International Specialized hospital ,UBC ne China Nanjing International Limited. #