Essaza ekkulu erya Kampala lijaguzza emyaka 57 bukyanga litongozebwa nerikyusibwa erinnya, lyayitibwanga Lubaga Archdiocese nerifuulibwa Kampala Archdiocese
Ebikujjuko bibadde ku lutikko e Lubaga.
Ssabasumba Paul Ssemogerere yakulembeddemu ekitambiro kya missa, n’atongoza omulamwa omuggya abakirisitu ggwe bagenda okutambula nagwo omwaka ogujja 2024.
Omulamwa; ‘’Ffe Ababatize tutambulire wamu nga twenyigira mu mulimu gw’obutume’’.
Ku lunaku luno Ssaabasumba abadde wakulangirira olukiiko oluggta olukulembera essaza ekkulu erye Kampala, wabula abyongendeyo ng’agamba nti alina ensoga zakyetegereza.
Okulonda abakulembeze b’essaza waliwo nga 30 September,2023 ku Pope Paul Momorial Hotel mu Ndeeba, nga kwali kukubirizibwa pastrol Coordinator w’essaza lye Kampala ,Rev Father Joseph Saerugga.
Abakulembeze okuva mu bigo bya klezia 72 beebakungaana nebalonda abakulembeze babwe abanabakulembera mu lukiiko lwa Kampala Archidiocese, mu bbanga lya myaka 5 egijja.
Wabula kigambibwa mu kulonda waliwo abaali besimbyewo mu bifo ebitaali bimu abecwacwana n’abamu nebaddukira ewa Ssaabasumba nebamulompera nti okulonda kwalimu ebirumira.
Ssabasumba asinzidde mu kitambiro kya missa mwabadde alina okulangirira olukiiko oluggya era alulayize lutandiike okukola emirimu, n’abakulembeze abakadde babadde bazze ne alipoota baweeyo obuyinza, Kyokka Ssaabasumba n’ategeeza nti ensonga z’abakulembeze abalonde akyazetegereza.
Abadde Sabakristu Ivan Kalanzi Alozius asinziddemu missa n’alangirira nti obuyinza abuwaddeyo mu butongole, ngera kati ekirindiriddwa lwe lukiiko olupya okutandiika okukola.
Ssaabasumba agambye nti olukiiko lw’essaza olukulembeze werutaali mwoyo mutuukirivu yaalamula.
Bisakiddwa: Balikuddembe Joseph