Ekizimbe kya kalina ekirala kigudde mu bitundu bye Nalumunye Katale Bukwenda Kyengera Town council mu district ye Wakiso, kibadde kikyazimbibwa.
Omuntu omu akakasiddwa nti afiiridde mu njega eno nga ye Oscar Nsamba myaka 19, abalala ababiri baddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka kuliko Ibra Muganzi 22 ne Damasco Mugogo 19.
Kalina egudde ebadde ya myaliriro esatu ebadde ekyazimbibwa.
Wegwiridde abazimbi basatu bebabadde bakola mirimu gyabwe.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Owesigire agambye nti ekizimbe ekigudde kibadde kya Dorcus Nakasi.
Engineer wa kalina egudde ategerekeseeko erinnya limu lya Rashid era police emuyigga.
Kalina eno wegwiridde nga wakayita wiiki bbiri, kalina endala ey’emyaliriro esatu yagwa mu bitundu bye Ndejje -Lufuka mu Makindye Ssaabagabo, abantu bana baafiiramu abalala bacapooca na bisago.