Office ya Kaliisoliiso wa government ya Uganda mu butongole etandise okunonyereza ku sipiika wa parliament Anitah Annet Among nga president bweyalagidde, ku bigambibwa nti alina ebyobuggaga mu ggwanga lya Bungereza.
Gyebuvuddeko government ya Bungereza yassa envubbo ku Speaker wa Parliament ya Uganda Anita Among ku byekusa ku bulyake n’obukenuzi, saako okubulankanya amabaati gabawejjere agaalina okugenda mu bitundu bye Karamonja.
Envumbo yeemu yassibwa ne ku baali ba minister okuli Marry Gorreti Kitutu ne Agnes Nandutu.
Speaker bweyali ayogera ku nvubbo zino yategeza nti talina wadde kappa mu ggwanga lya Bungereza, era nti yakagenda e Bungereza omulundi gumu gwokka nolwekyo yali tatidde nvubbo zamutekebwako, zeyagamba nti zabyabufuzi, ezekuusa ku tteeka erirwanyisa ebisiyaga lyeyakulemberamu okuyisa mu Parliament.
Mu baluwa President Museveni gyeyawandiise eri Kaliisoliiso wa Government ne minister w’ensonga z’amawanga amalala Gen Jeje Odongo saako minister w’empisa, Gen Museveni yalagidde nti wabeewo okunoonyereza okwenjawulo ku Speaker Among ku bigambibwa nti alina amayumba mu United Kingdom ne akawunta kwateeka ensimbi saako e byobuggagga ebirala.
President Museven agamba nti yewunya omuntu okubeera n’ennyumba mu Bungereza oba munsi endala yonna nga ne Uganda ekyalina enkulakulana efaanana nga eyo okwongera okusituka mu byenfuna .
Ebyobuggagga bya Anita Among mu United Kingdom okuli namayumba agagambibwa nti agalina agatuunula nga abantu, Muzeei Museveni byamukakasiddwa omubaka wa Bungereza mu Uganda Airey Kate mu ensisinkano gyebabaddemu gyebuvuddeko, bweyabadde amunnyonyola ku nvubo eyamuteekeddwako.
Kigambibwa nti omubaka wa Bungereza yannyonyodde president nti Among alina amayumba e Bungereza saako akawunta ezenjawulo zakozesa okusasula ebisale by’abaana be abasomera munsi ze Bulaaya.
Museveni ayagala Kalisoliso wa Government akole okunonyereza kungeri Speaker Among gyeyafunamu ennyuma eno mu Bungereza ne gyeyaggya ssente okugizimba, ensonga ezo bwezinategerekeka bulungi,wakusalawo ekiddako.
Omukulembeze we ggwanga weyaviriddeyo nga okwemulugunya kungi okuva mu bakulembeze ne bannauganda abatali bamu, olwengeri abakungu mu government gyebakozesamu ensimbi z’omuwi w’omusolo, nga bagala wabeewo embalirira eyenjawulo kubakungu abagambibwa okukozesa ssente za bannauganda nga bwebagala.
Kigambibwa nti abakungu ba government bangi bongedde okwegaggawaza nga bayita mu kukozesa sente z’omuwi z’omusolo ekireetedde okugaziya omuwaatwa wakati wa bannauganda abagagga n’abaavu. Ng’ekiwayi ekimu eky’abannauganda kigagga nnyo ate ekirala nga kyongera kwavula
Omwogezi wa Kalisoliso wa government Ali Munira ategezeza CBS nti okunoonyereza kutandise nga president weyabalagidde, era bakumuwa byebanaba bazudde mu bwangu ddala.
Bino webijidde nga ate kigambibwa nti ne Dubai yatadde envubo ku Anita Among ku ensonga zezzimu, era kati atuula buffoffofo okulaba engeri gyava mu mbeera eno.#