Kaliisoliiso wa government Betty Olive Namisango Kamya aweze okufaafagana n’ebitongole bya government ebitatuusa buweereeza bwa mutindo ku bannauganda.
Betty Kamya agamba nti waliwo etteeka lya Ombudsman Function Of the Inspectorate of Government, liragira ebitongole bya government okuwa banansi obuweereeza bwebetaaga ewatali kwewuluntaza, era nti alemererwa okukikola akangavulwa.
Kaliisoliiso asabye bannauganda abawulira nga tebafuna buweereza bumala okuva mu bitongole bya government gamba nga ebyeby`okwerinda, eby`obulamu, ebyenjigiriza, eby`okwerinda, essiga eddamuuzi, nebitongole ebirala, obuteetiririra bagende mu office ye bekubire enduulu.
Agambye nti abantu ba bulijjo bebalina okuvaayo nebeekubira enduulu, nti naye bwewatabaawo yemulugunya ebitongole ebirina okukwasaganya ensonga bibeera tebirina webitandikira.
Mu mbera yemu Betty Olivia Namisango Kamya asabye abakoozi ba government abatulugunyizibwa bakama babwe naabo abagyibwa ku nkalala okusasulibwa emisaala gya government nga tebaweereddwa nsonga, okuddukira mu office ye bayambibwe.
Betty kamya ng’asinziira mu programme Kkiriza oba Ggaana ku Cbs Emmanduso.m agambye nti omwaka guno yafunye okwemulugunya ku mpereeza ya government okuva mu bantu 5000, era abantu 3,550 ensonga zabwe zaagonjoddwa nga nabasigadde bakyakolebwako.
Bisakiddwa: Musisi John