Wofiisi ya Kaliisoliiso ekutte abakozi ba government 9 mu district ye Bugiri, n’omulala omu e Madi Kollo ku bigambibwa nti beezibika sente z’omuwi w’omusolo eziri mu kawumbi ka shs kalamba n’obukasse 200.
Abakwatiddwa kuliko omuwanika wa District ye Bugiri Nyende Mustafa, Accountant Mugoya Abdallah saako Ezaruku Kazimiro CAO we Madi Okollo(yali CAO we Bugiri) n’abalala.
Abalala kuliko Abdullah Waiswa, Senior Accountant, Minsa Atoire Senior Accounts, Fred Bazibu Assistant Accountant, Henry Kabuki DEO, Haruna Kamba omumyuka wa CAO, Paul Moses Isiko District Production Officer, Fred Ikaaba Engineer, ne Muhammed Kyondha ateekerateekera district.
RDC e Bugiri Paul Kalikwani agambye nti abakwatiddwa banoonyerezebwako ku bigambibwa nti bandiba nga bebezibika ensimbi zino mu biseera by’omuggalo gwa Covid 19.#