Omuwala munnansi wa Tanzania Kaftah Queen agambibwa okukuliramu okukuba n’okutugunya muwala munne Pretty Nicole ng’amulumiriza okuganza muganzi we asindikiddwa mu nkomyo e Luzira, oluvannyuma lwókuggulwako omusango gw’okutulugunya omuntu gweyegaanye.
Oludda oluwaabi lulumiriza Kafta ne banne abalala abalyira ku nsiko, nti nga 8th omwezi guno ogwa January 2023, bakakkana ku muwala Pretty Nicole Eseza ow’emyaka 15 gyokka nebamukuba emiggo, nga bamulumiriza okuganza Derrick Lwanga muganzi wa Kafta, nga bino byonna byali ku kyalo Nsasa mu municipaali ye Kira.
Kafta Queen olusomeddwa omusango guno nagwegaana, omulamuzi wa kkooti ento e Kira Esther Nyadoi kwekumusindika e Luzira okutuusa nga 31st omwezi guno ogwa January,2023, lwanaddamu okulabikako mu maaso gómulamuzi Roselyn Nsenge.
Khafta yoomu ku bawala abalabikira mu katambi akaakwatibwa nekasaasaanira emikutu emigattabantu nga kalaga ye ne banne nga bakkakanye ku Nicole bamukuba emiggo, okumusika enviiri n’okumuyiira amazzi.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam