Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiimye ng’ayita mu Lukiiko oluteekateeka Amazalibwage olukulemberwa Omuwanika w’Obwakabaka era Omumyuka owookubiri owa Katikkiro Owek Robert Wagwa Nsibirwa, ekizimbe ekipya ekyabbuddwamu Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ku ssomero lya St Peters SS Bombo Kalule kiggulwewo nga 4/4/2025.
Ssaabasajja Kabaka mu mwaka gwa 2009, yasiima nakwasa omutandisi w’Essomero lya St Peters SS Bombo Kalule Omulangira Ronald Mulondo ekyapa kya yiika emu(1).
Ettaka lino lyamukwasibwa oluvannyuma lw’okuwangula Entanda ya Buganda etegekebwa CBS CBS, abamegganyi mwebavuganyiza mu kuddamu ebibuuzo mu lulimi oluganda n’okwolesa obumanyi mu buwangwa n’ennono za Buganda, saako ebintu ebirala.
Ettaka Omutanda Ekyapa ky’ettaka yakimukwasiza mu Lubiri e Mengo mu Nkuuka, ekivvulu ekiggalawo omwaka n’okuyingiza abantu ba Kabaka mu mwaka omulala .
Ku ttaka erya yiika emu kwaliko ekizimbe ky’essomero kimu, kyokka werutuukidde leero nga essomero kati litudde ku bugazi bwa yiika15.
Omulangira Ronald Mulondo era nga ye Kangaawo akulembererako Kabaka essaza Bulemeezi, ategeezezza nti essomero Kabaka lyeyamukwasa okuva ku CBS ng’ayita mu Program Entanda ya Buganda ,likulaakulanye era lifuuse ensonga mu byenjigiriza mu Luweero ne Uganda yonna.
Ekizimbe ekiggya ekya ekyabbuddwamu Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ekyazimbiddwa ku ssomero lino erya St.Peter’s Bombo Kalule, kyakuggulwawo nga 04 April,2025, ng’emu ku nteekateeka y’okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’omulundi ogwe 70.
Amazaalibwa ga Nnyininsi Sseggwanga Musota Ccuucu gakuzibwa buli nga 13 April.
Waliwo ebikujjuko ebirala bingi ebitegekeddwa okukuza amazaalibwa, omuli n’emisinde Mubunabyalo egigenda okusimbulwa nga 06 April,2025 mu Lubiri e Mengo, olwo gisaasaanire ebitundu ebirala okwetoloola ensi.#