Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye nakwaasa abaami be Ab’Amasaza tractor ezinaakozesebwa okusitula eby’obulimi, ng’ekimu ku birabo by’Amazalibwage ag’emyaka 70.
Amasaza 5 gegasoose okuweebwa tractor okuli Buweekula, Mawokota,Bugerere,Kooki,Mawogola.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti kino kikoleddwa okunnyikiza enyingo y’Okukola obuteebalira mu Bantu ba Kabaka, okulwanyisa obwavu n’enjala.

Katikkiro akuutidde abantu ba Kabaka abakwasiddwa tractor zino, Obutaswaaza Beene baazikozesa bulungi kino kiyambeko mu kunnyikiza ekitiibwa kye Empalabwa.
Owek Amiisi Kakomo nga ye minister w’Ebyobulimi,Obuvubi n’Obweegassi ,yebazizza bannamukago abenjawulo abatuukirizza obweyamo,okulaba nga tractor zituuka, era naasaba nti tractor zireme kuba zakulwaanira.

Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abaami b’Amasaza era nga yakuleembererako Kabaka essaza Bulemeezi Kangaawo Omulangira Ronald Mulondo, yebazizza Empalabwa olw’okwoolesebwa okwenjawulo.