• Latest
  • Trending
  • All
Mu bifaananyi – mu lutikko e Lubaga mu kukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II age 70

Kabaka ke kabonero era ekitikkiro ky’ebyo byetukkiririzaamu – Kabaka Mutebi @70 mu lutikko e Lubaga

April 13, 2025
Lawyers, family members, and supporters of  Erias Lukwago are anxiously awaiting  for his bail application ruling – to be delivered electronically

Lawyers, family members, and supporters of Erias Lukwago are anxiously awaiting for his bail application ruling – to be delivered electronically

June 22, 2026

30 years of CBS radio beyond broadcasting – Culture, Community,Commerce

June 22, 2026

Obubaka bwa Ssentebe wa boodi ya CBS FM ng’ejaguza emyaka 30 – obuweereza bwayo busukka ku bwokumpewo

June 22, 2026

Akakiiko k’ebyokulonda kalangiridde olwa nga 28 July,2026 okulonderako obukiiko bw’ebyalo – kwakusiimba mu mugongo

June 22, 2026
22 June,1996 – kati gy’emyaka 30 beddu nga CBS ekuweereza amawulire,omuziki n’ebikuziimba

22 June,1996 – kati gy’emyaka 30 beddu nga CBS ekuweereza amawulire,Omuziki n’ebikuzimba

June 22, 2026
Buddu etandise nabuwanguzi ekubye Buluuli 2 -1 mu Mpaka z’Amasaza 2026

Buddu etandise nabuwanguzi ekubye Buluuli 2 -1 mu Mpaka z’Amasaza 2026

June 21, 2026
Joseph Sseruwooza abadde munnamawulire wa BBS Telefayina aziikiddwa e Rakai

Joseph Sseruwooza abadde munnamawulire wa BBS Telefayina aziikiddwa e Rakai

June 21, 2026

IPOD ewandiikidde NUP eteekeyo okusaba kwayo mu butongole yegatte ku mukago – mulimu akakwakkulizo ka president wakyo Robert Kyagulanyi Ssentamu yekka yakkirizibwa okussa omukono ku ndagaano

June 20, 2026
Abadde omukozi wa BBS Terefayina Joseph Sseruwooza bamutenderezza ng’omukozi abadde ow’embala- bamusabidde mu lutikko e Lubaga

Abadde omukozi wa BBS Terefayina Joseph Sseruwooza bamutenderezza ng’omukozi abadde ow’embala- bamusabidde mu lutikko e Lubaga

June 20, 2026
Kisembo Paddy owa NRM awangudde akalulu k’okuddamu okulonda ssentebe wa district ye Kikuube

Kisembo Paddy owa NRM awangudde akalulu k’okuddamu okulonda ssentebe wa district ye Kikuube

June 19, 2026
Ebyava mu kukebera endagaluse z’omuyimbi omugenzi Paul Job Kafeero n’abaana be byakulangirirwa nga 25 June,2026

Ebyava mu kukebera endagaluse z’omuyimbi omugenzi Paul Job Kafeero n’abaana be byakulangirirwa nga 25 June,2026

June 18, 2026
Okulonda ssentebe wa district ye Kikuube – obuuma bu biometric machines bwebukozeseddwa

Okulonda ssentebe wa district ye Kikuube – obuuma bu biometric machines bwebukozeseddwa

June 18, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Kabaka ke kabonero era ekitikkiro ky’ebyo byetukkiririzaamu – Kabaka Mutebi @70 mu lutikko e Lubaga

by Namubiru Juliet
April 13, 2025
in BUGANDA
0 0
0
Mu bifaananyi – mu lutikko e Lubaga mu kukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II age 70
0
SHARES
110
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Okuzaalibwa kw’Omulangira Mutebi kwatandikira mu biseera ebya kazzigizzigi, nga Kabaka Muteesa Fredrick Muteesa II ali mu buwaηaanguse.

“Mu 1954 Kabaka Muteesa yetegula obutiti obwali e Bungereza gyeyali mu buwaηaanguse, neyewogomako mu France. Eyo Omuzaana Sarah Nalule Kisosonkole  gyeyamusisinkana ng’ageenze okumulabako ebibala ebyavaayo ye Kabaka wa Buganda owa 36 Ronald Muwenda Mutebi II,eyazaalibwa nga 13 April,1955”

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abadde mu lutikko e Lubaga mu mikolo gy’amazaalibwa ga Kabaka age 70, naayitayita  mu bintu ebyenjawulo Lukomannantawetwa Ssanyulyabuganda Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ebizze bibaawo era ebiwadde Obuganda essuubi n’essanyu okutuuka ku mazaalibwa ge ag’omulundi ogwe 70.

Mu kusaba kuno okukulembeddwamu Ssaabasumba Paul Ssemogerere:

Katikkiro wa Buganda akinogaanyizza nti ; Mu 1966 Obwakabaka bwa Buganda bwagwamu kazzigizzigi omulala, Obwakabaka bwebwawerebwa mu mateeka nebuggyibwawo,  naye ssi mu mitima gyaffe.

“Obwakabaka gwe Mubumbirano gw’obuwangwa, ennono,n’empisa zaffe, era Kabaka ke kabonero era ekitikkiro kyebyo byetukkiririzaamu” Katikkiro Charles Peter Mayiga

Ssaabasumba Paul Ssemogerere ng’akwasa Katikkiro Charles Peter Mayiga ebirabo by’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka age 70, bw’anaaba asiimye aganaafuuka amakula

Katikkiro ayanjudde  Emiramwa 4 egisoosowaziddwa mu kukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Mutebi II age 70

1 – Okwebaza Katonda okubikka akasubi ku Mutanda, okuyita mu biseera ebyenjawulo, okumuyisa mu biseera ebyenjawulo okuviira ddala mu buzaale bwe, okusomakwe, mu buwaηaanguse, okutuuka ku matikkira ge, okuwayira, okukulaakulanya Obuganda, n’okutuwa essuubi n’essanyu

2- Okusitula eby’obulamu; ng’abantu babeera balamu, saako okuziimba amalwaliro agabbuddwamu Ssekabaka Muteesa II eyalafuubana ennyo okukulaakulanya eby’obulamu.

3- Ebyenjigiriza; kyesigamizibwa ku kiragiro ky’Omuteregga yali mu ssaza Buweekula, n’ategeeza nti eky’obugagga ekisiinga omuzadde kyasobola okuwa omwana we, kwekumuwa ebyenjigiriza ebirungi era eby’omutindo.

Ssekkesa Sseddugge aweeredde abaana , okuyita mu Kabaka Foundation, aziimbye amasomero okuviira ddala ku Nursery okutuuka ku University.

4- Eby’obulimi;Omutanda bweyali ajaguza emyaka 16 ku Nnaamulondo, yatongoza omwaka ogwokukola era yali mu ssaza lye Busujju, Omutanda gyeyasinziira ye kennyini naabyala lumonde. Kaali kanobero akaali kalagira abantu be obukulu b’wokulima, okukola obutaweera n’obuteetundako ttaka.

Mu 2016, Ssebugulubwannyomo yayisa entegeka y’okulima emmwanyi, ekyusizza obulamu bw’abantu.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yebazizza olukiiko oluteeseteese amazaalibwa g’Empologoma ag’omulundi ogwe 70, olukulembeddwamu omumyuka owokubiri owa Katikkiro Owek.Robert Waggwa Nsibirwa, n’Omumyuka asooka owa Katikkiro eyakulemberamu emisiinde gy’amazaalibwa Owek. Twaha Kawaase Kigongo n’eyamumyuka Owek Robert Sserwanga Ssalongo.

Katikkiro agambye nti emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gyabyafaayo, nti kubanga gwe mukolo gw’obuwangwa ogusiinga okwetabwako abantu abangi ate nga bagusasulidde nga bayita mu kugula obujoozi bwebambala nga bagenda okudduka emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka.

Gy’emisinde egisiinga amaanyi ku ssemazinga Africa, ate gikwata ekifo kya 4 munsi yonna.

Mu ngeri yeemu Katikkiro asabye abantu ba Kabaka: nti Twefumiitirize Buganda gyevudde, weeri negyeraga,

nga tukuuma, tunyweza era nga tutaasa Namulondo,okukola ennyo, Obumu,Okukuuma ensalo za Buganda,

n’okulafuubana okufuna enfuga eya Federo.

Maasomoogi atonedde ekelezia oluggi lwa Wankaaki y’ennyumba y’abasasorodooti ezimbibwa ku lutikko e Lubaga, era ekirabo kino akitisse Omulangira David Namugala.

 

Mu ngeri yeemu Eklezia etonedde Kisiikirize kya Katonda Omuterega Muwenda Mutebi II, ebirabo bya mirundi 3, omuli ekitabo ekitukuvu ekiwandiikiddwa mu lulimi lw’abantu abatawulira, essaala ya Jubileewo ewangiddwa mu kifaananyi eyaweebwayo Paapa Francis I, saako ekifaananyi kya Lutikko ye Lubaga ekiwangiddwa.

 

Ekitiibwa kya Buganda kiyimbiddwa mu bujjuvu ku mikolo gy’okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu lutikko e Lubaga.

Nnabagereka ku lwa Nnaantalinnya mu Kateebe era asiimbye omuti Entaseesa ku lwa Ssaabasajja, ng’aweza emyaka 70 ku lutikko e Lubaga.

Keeki y’Amazaalibwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II age 70

Mulyazzaawo Ccuucu Muzaawula Ffumulizannyiramubwengula Sseggwanga Musota asiimye  Nnaabagereka Sylivia Nagginda naasala Keeki y’amazaalibwa ge ag’omulundi ogwe 70 era naagabula Obuganda.

 

 

 

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Lawyers, family members, and supporters of Erias Lukwago are anxiously awaiting for his bail application ruling – to be delivered electronically
  • 30 years of CBS radio beyond broadcasting – Culture, Community,Commerce
  • Obubaka bwa Ssentebe wa boodi ya CBS FM ng’ejaguza emyaka 30 – obuweereza bwayo busukka ku bwokumpewo
  • Akakiiko k’ebyokulonda kalangiridde olwa nga 28 July,2026 okulonderako obukiiko bw’ebyalo – kwakusiimba mu mugongo
  • 22 June,1996 – kati gy’emyaka 30 beddu nga CBS ekuweereza amawulire,Omuziki n’ebikuzimba

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist