Katikkiro wa Buganda Charles Peter atongozza akakiiko akagenda okutegeka emisinde gy’Okujjukira amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’emyaka 69, wamu n’Akakiiko akagenda okutekega amazaalibwa g’Empologoma, n’Omulanga eri abantu ba Kabaka okukozesa amakubo gonna agayitwaamu okweewala Mukenenya nnamutta.
Emisinde gy’Okujjukira amazaalibwa ga Beene gyakubaawo nga 7 April, 2024 mu Lubiri lwa Beene e Mengo n’Okwetoloola amasaza gonna mu Buganda , ebweeru waayo n’ebweeru wa Uganda.
Emisinde gyakuddukibwa ku mulamwa ogugamba nti Abasajja babe basaale mu kulwaanyisa Mukenenya, nga bataasa omwana Omuwala.
Okujjulira amazaalibwa g’Empologoma kubeewo nga 13.4.2024 mu Lubiri e Mengo.
Katikkiro bw’abadde atongoza enteekateeka zino asabye Abakyaala n’Abaami okubeera abegendereza nga beewala ebiviirako Mukenenya okusasaana, olwo bakolerere Obuganda ne Uganda yonna okutuuka ku nkulaakulana.
Ssentebe w’Olukiiko oluteekateeka emisinde gy’Okujjukira amazaalibwa ga Beene age 11 nga akiikiriddwa Omumyuuka owokubiri owa Katikkiro Owek Robert Wagwa Nsibirwa, agambye nti emisinde gy’amazaalibwa ga Beene kitundu ku kujjukiza bannansi akabaate akali mu kusasaana kwa Mukenenya, naasaba abaami okusigala nga basaale mu kukalwaanyisa.
Minister w’Abavubuka ebyemizannyo n’Ebitone Owek Robert Sserwanga Ssalongo, agambye nti newankubadde emisinde gy’Omulundi guno gyakwongera okuteeka essira ku kulwanyisa Mukenenya, gyakubeera kitundu ku kusitula embeera z’ebyobulamu.
Dr Vincent Bagambe ku lwekitongole ki Uganda AIDS commission, yebazizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olwa Kaweefube gwatadde mu kulwanyisa Mukenenya, nga okusasaanya kwa Mukenenya Kati kuli ku bitundu 5%, okuva ku bitundu 18% ebyaaliwo mu myaaka gye 80s.
Dr.Bagambe agambye nti olw’Enkolagana ennungi wakati wa Uganda AIDS commission n’Obwakabaka omuwendo gw’abaana abafuna akawuka okuva ku ba Maama gwongedde nagwo okukendeera mu Buganda, ekiwadde abasawo essuubi ly’Okumalawo Mukenenya.
Abantu emitwaalo 110,000 bebasuubirwa okwetaba mu misinde gy’Okujjukira Amazaalibwa g’Empologoma Omwaka guno, nga giwagiddwa Airtel Uganda, Uganda AIDS commission, I&M bank , USAID, CBS ,BBS Terefayina, Monitor publications ,Vision group.
Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Owek Dr. Haji Prof Twaha Kawaase Kigongo ye Ssentebe wakakiiko akategeka Emisinde gy’Okujjukira amazaalibwa ga Ssaabasajja.
Owek Joseph Kawuki ye Ssentebe w’akakiiko akategeka amazaalibwa ga Beene age 69.
Bisakiddwa: Kato Denis
Ebifaananyi: MK Musa