Bazzukulu ba Ggunju abeddira obutiko bebaakulembeddemu okusanyusa Omuteregga Nnyininsi Ssaabasajja, bamuzinidde amazina amaggunju.
Omuyimbi Mesach Ssemakula ayimbidde omuteregga oluyimba lwe olupya lwetatuumye BBEERAWO, lwagaliza Ssaabasajja Obulamu obulungi, n’okusaba omutonzi ayongere okumuwangaaza.
Abaana békibiina ki Ghetto kids nabo basanyusizza Omutanda, era násiima nábakwatako mu ngalo, nábeebaza olwókukiikirira obulungi eggwanga mu mpaka zébitone ez’e Bungereza.
Abayizi b’amasomero abakulembeddwamu essomero lya Buddo SS nabo bayimbidde omutanda.