Essaawa zibadde zikunukkiriza okuwera omwenda ez’olweggulo, Nnamutikkwa w’enkuba naatandika okufudemba mu kibuga Kampala, era emirimu mingi gisannyaladde omugendedde n’ekivvulu ky’omuyimbi Dr.Jose Chameleone.
Jose Chameleone atuseeko e Lugogo ng’enkuba yakakya, era asazeewo okukyongezaayo okutuuka nga 24 February,2023.
Ekivvulu kino kyeyatuumye Ggwanga mujje kibadde kitegekeddwa ku Cricket Oval e Lugogo, ku mitwalo 20,000/=, 50,000/= n’obukadde munana buli meeza.
Siteegi ebadde etimbiddwa amatiribona n’ezimu ku weema enkuba ezitimbuddeyo, nga wabulayo ssaawa busaawa ekivvulu kitandike.
Weema ya VIP yesigadde eyimiridde.
Ekivvulu ggwanga mujje kyategekeddwa kampuni ya Big events .
Bisakiddwa: Abdul Swabur Kamoga