MunnaUganda Jas Mangat asitukidde mu mpaka z’emmotoka eza Pearl of Africa Rally Championship ez’omwaka guno 2022.
Jas Mangat avugidde essaawa 1:53:6.
Empaka zino zimaze ennaku 3 nga ziyindira mu bitundu bye Buikwe ne Mukono mu Uganda,wakati mu nkuba ebadde efudemba mu bitundu ebyo eyonoonye n’enguudo.
Jas Mangat obuwanguzi buno abutuseeko nga ali wamu n’omusomi we owa maapu, Joseph Kamya, mu mmotoka ekika kya Mitsubishi Lancer Evolution.
Guno gwe mulundi ogwokubiri nga Jas Mangat awangula empaka za Pearl of Africa Rally Championship, yasooka kuziwangula mu 2013.
Omuzambia Leroy Gomel akutte kyakubiri,ng’avugidde essaawa 1:58:11.
Giancarlo Davite owa Rwanda y’akutte eky’okusatu,avugidde essaawa 1:58:57.
Bannayuganda abalala nabo balaze amaanyi mu mpaka z’omulundi guno,era befuze ebifo ebisinga obungi.
Ponsiano Lwakataka Mafu Mafu akutte ekifo kyakuna nga ali wamu n’omusomi we owa maapu Paul Musaazi, mu mmotoka yabwe ekika kya Subaru Impreza, era nga naye yaziwangulako mu 2011.
Ate nga twesigama ku nsengeka ya bannauganda nga bwebaakoze mu mpaka zino, Lwakataka abeera mu kyakubiri.
Yasin Nasser akutte kyakusatu, Rugomoka Byron akutte kya 4, Abdul Katete kya 5, Jonas Kansiime kya 6.
Umar Dauda kya 7, Mukasa Moustapha kya 8, Ntambi Oscar kya 9 ate Dr Ashiraf Muhammed kya 10.
Abavuzi bannayuganda abamanya abatakoze bulungi mu mpaka z’omwaka guno kubaddeko Duncan Mubiru Kikankane akutte ekifo kya 18, Ronald Ssebuguzi ekifo kya 20, Hassan Alwi akutte ekifo kya 21 era ngoono yeyaziwangula mu 2016, ate Arthur Blick Junior kya 33.
Empaka zino eza Pearl of Africa Rally Championship ez’omwaka 2022, zibadde za mulundi gwa 23.
Munna Kenya Manvir Bryan, y’abadde yasembayo okuziwangula emirundi 3 egy’omudiringanwa mu 2019, 2018 ne 2017.
Omwaka gwa 2020 ne 2021 tezaategekebwa olw’ekirwadde ki COVID 19.
Empaka zino zetabiddwamu abavuzi okuva e Kenya, Rwanda, Burundi ne Zambia, nga zibadde ku calender ya Africa Rally Championship ne National Rally Championship eya Uganda.
Abamu ku bannantameggwa ba Pearl of Africa Rally Championship mu myaka 10 egiyise
2022 – Jas Mangat
2021 – tezaategekebwa
2020 – tezaategekebwa
2019 – Manvir Bryan (Kenya)
2018 – Manvir Bryan(Kenya)
2017 – Manvir Bryan (Kenya)
2016 – Hassan Alwi (Uganda)
2015 – Jaspreet Singh (Kenya)
2014 – Rajbir Rai (Kenya)
2013 – Jas Mangat (Uganda)
2012 – Mohammed Essa Zimbabwe
2011 – Ponsiano Lwakataka( Uganda)
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe