Eyaliko Ssabalabirizi w’e Kanisa ya Uganda Archbishop Janan Luwum yakulembera ekkanisa ya Uganda okuva 1974 okutuusa 1977 weyafiira.
Bannaddini saako abakulembeze abalala mu ggwanga bagala gavumenti eriko kati efulumye alipoota eraga ekituufu ku nfa y’omugenzi etegeerekeke.
Archbishiop Janan Luwumu yali enzaalwa ye Kitgum yamala emyaka 3 gyokka mu ntebe yóbwa ssaabalabirizi naafa.
Government yategeeza nti Luwum yafuna akabenje ng’ava e Nakasero mu Kampala akaamuviirako okufa.
Wabula oluvannyuma amawulire gaatandika okusaasaana nti yattibwa buttibwa eyali president wa Uganda mu biseera ebyo Ssalongo Iddi Amin Dada Oume, nti ye kennyini yeyamwekubira amasasi e Nakasero.
Kibigambibwa nti yali amulanga kwogera kwebyo ebyali bitatambula bulungi mu government nókulwanirira eddembe lyóbuntu.
Bino byonna okubaawo Janan yali yakamla okuwandiika ebbaluwa ng’anenya government ya Amin olw’okulinnyirira eddembe ly’obuntu, nekyaddirira magye kulumba maka ge e Namirembe.
Amagye gategeeza nti gaali gafunye amawulire agalaga nti ssaabalabirizi yalina emmundu n’ebyokulwanyisa ebirala byeyali akukulidde mu maka ge.
Yakwatibwa naatwalibwa e Nakasero okubuuzibwa akana nakataano, wabula wayita mbale, government netegeeza nti Janan Luwum yali afiiridde mu kabenje ne ba minister babiri.
Dr. Livingstone Ssewannyana akulira ekitongole ekirwanirizi kye ddembe lyóbuntu ekya Foundation for Human Rights Innitiative agamba nti ku lunaku nga luno olw’okujjukira Janan Luwum, abantu balina okubuulirwa ekituufu ekyatuuka ku ssabalabirizi Luwum basobole okwewala ebyo ebyatuukawo mu kiseera ekyo, ate nókukuuma eddembe lya bannabwe.
Ssabalabirizi we Kanisa ya Uganda Dr.Samuel Kazimba Mugalu agamba nti abantu balina okukozesa olunaku luno okulwanyisa nókwogera ku bintu ebiruma abalala awatali kutya.
Ssaabalabirizi agambye nti ebintu bingi ebiguddewo mu ggwanga lino alipoota nga tezifulumizibwa, ekireetawo omuwaatwa mu ngeri ebintu gyebirina okukwatibwamu n’okutereezebwa.
Government ya NRM yasaawo olwa 16 February,buli mwaka okujjukirirako Ssaabalabirizi Janaan Luwum olw’ebirungi byeyakolera eggwanga, n’okwogereranga abalina mwasirizi.
Omukolo omukulu ogw’omwaka guno 2023 gutegekeddwa mu kisaawe kye Kanisa ya Muchwini Wigwen mu District ye Kitgum, okumpi nómugenzi weyaziikibwa.#