Goolo ya Nigeria eteebeddwa captain Troost Ekongo.
Omupiira gunyumidde mu kisaawe kya Alassane Ouattara ekituuza abantu emitwalo 6, wabula nga gulabiddwa abantu 57,094.
Ekisaawe kisangibwa mu kibuga kya Ivory Coast ekikulu Abidjan.
Ivory Coast ewangudde empaka zino omulundi ogw’okusatu, nga ebadde yasooka kuwangula mu 1992 ne 2015.
Ivory Coast omupiira guno egwefuze ebitundu 63% ate Nigeria ebitundu 37 %.
Nigeria ebadde erwana kuwangula kikopo kya mulungi gwa 4, yakiwangula mu 1980, 1994 ne 2013.
Omupiira guno gwetabiddwako president wa Ivory Coast Alassane Ouattara.
President w’omupiira munsi yonna Gianne Infantinho abaddewo, ne Asene Wenger omukungu wa FIFA naye abaddewo.
President w’omupiira mu Africa Dr Patrice Motsepe agulabye butereevu era nga yayambazza abazannyi emidaali aba tiimu esatu empanguzi okuli Ivory Coast, Nigeria ne SouthAfrica abakutte ekyokusatu.
Abaliko banakinku mu kucanga endiba ku semazinga Africa kubaddeko Didia Brogba, Emmanuel Adibayo, Mwanku Kanu, Solomon Kalou n’abalala.
Goolo 119 zezitebeddwa mu mipiira 52 egizannyiddwa.
Abantu 1,052,499 bebalabye emipiira gyonna 52 munda mu bisaawe ebyenjawulo.
Omuzannyi Emilio Nsue owa Equatorial Guinea yasinze okuteeba goolo enyingi ziri 5.
Ronwen Williams omukwasi wa goolo ya South Africa yasinze okukwata goolo.
Captain wa Nigeria William Troost Ekongo yasinze okucanga endiba AFCON 2023.
Omuwanguzi w’empaka afunye kavu w’ensimbi, mu za Uganda zibalirirwamu obuwumbi bwa shs 26 ate ow’okubiri obuwumbi 15.
Empaka zino zibadde za mulundi gwa 34 nga zitegekebwa okuva lwe zatandika mu 1957.
Empaka eziddako zigenda kubeera Morocco omwaka ogujja 2025.