Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye emirimu egikolebwa ayaliko Omukubiriza w’’olukiiko lwa Buganda Ow’ekitiibwa Rotarian Neslson Kawalya.
Obubaka bwe Mpologoma busomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kusaba okwokwebeza Katonda olw’obulamu n’emirimu gy’Owekitiibwa Nelson Kawalya.
Omuteregga agambye nti Nelson Kawalya akaoze emirimu mingi egigasizza abantu bangi ate nga teyebalira.
Okusaba kubadde mu lutikko e Namirembe era nga kwetabiddwako abakulembeze ku mitendera egyenjawulo mu Buganda, mu government eya wakati, ekkanisa, ne Rotary.
Kwetabiddwako Nnaabagereka Sylvia Nagginda, omumyuuka owokubiri owa Katikkiro Owek Robert Waggwa Nsibirwa , Nnalinnya Dorothy Nassolo,Nalinnya Sarah Kagere ,Omulangila David Kintu Wasajja ,Owekitibwa Bbaale mugerwa , Bakatikkiro abawumula okubadde Owekitibwa Dan Muliika, Owekitibwa Mulwanya Muli Ssemwogerere , Owekitibwa Eng JB Walusumbi,Owekitibwa JC Muyingo n’abantu abalala abangi ddala.
Kulwa Gavumenti ya Ssabasajja, Katikkiro Charles Peter Mayiga ategezeeza nti emirimu gyakabaka gikolebwa abantu abamalirivu ,nga kino kyeyolekera mu buwereza bw’Owekitiibwa Nelson Kawalya, era bingi byeyakola.
Kulwa Government eya wkati Minister Omubeezi owa Technology Owekitibwa Joyce Juliet Nabbosa Ssebugwaawo yebazizza Omugenzi olwokulwanira enkulakulana y’e ggwanga
Katikkiro we Kika kye Nsenene Ian Kabali Kalibbala ategeezeza nti Omugenzi Nelson Kawalya alwaniridde nnyo ensonga ze Kika n’okukumakuuma abazukulu.
Bwabadde akulembeddemu okusaba Omulabirizi we Namirembe Moses Banja yabazizza Omugenzi Owekitibwa Nelson Kawalya olwokuwereza ekkanisa nga teyebalira.
Omukubiriza wa bakulisitaayo mu bulabirizi bw’e Namirembe Owekitiibwa David Kiwalabye Male yebazizza Omugenzi olw’amaanyi gatadde mu kuzimba n’okukulaakulanya ekkanisa.
Namwandu Annet Kawalya atenderezza omukwano Omugenzi gwabadde nagwo eri famile n’abantu bonna.
Wafiiridde babadde bakajaguza amyaka 50 mu bufumbo obutukuvu nga 14 December,2024.
Bisakiddwa: Julius Ssebuliba