Ssaabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asiimye emirimu egikoleddwa ebitongole by’obwakabaka gyagambye giyambye okutuusa obuwedreza obwenjawulo ku bantu.
Obubaaka Omutanda abuttise Omumbejja Joan Claire Tebattagwabwe Nassolo, ku mukolo gw’ennyimba z’amazaalibwa ga Kristo ezibadde mu Bulange e Mengo.
Omuteregga yabazizza abawereza mu bitongole olw’obumalirivu n’okwewaayo ku mirimu , bwatyo abagalizza Ssekukulu n’omwaka ogwemirembe.
Ssaabasajja ajjukizza abaweereza b’ebitongole by’Obwakabaka n’abantu bonna okwewala okuvuga endiima, okwewala siriiimu n’okulwanyisa obutabanguko mu maka.
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abaweereza okwongera obuyiiya n’okwagala emirimu gyebakola saako okuba abeerufu nga bakola emirimu gy’Obwakabaka.
Omulabirizi w’e Namirembe Kitaffe mu Katonda Moses Banja awanjagidde omuntonzi ayongere Ssabasajja Kabaka Obulamu obulungi.

Kwaya eziwerako okuva mu Bulabirizi bwe Namirembe ziyimbye ennyimba z’amazaalibwa ga Kristo ku mukolo guno, nga zikulembeddwamu kwaya eya wamu ey’ebitongole bya Buganda.
Radio Cbs erangiriddwa ng’ekitongole ekisinze okukola emirimu mu bitongole by’Obwakabaka Omwaka 2024, era Ssenkulu wa Cbs Omukungu Micheal Kawooya Mwebe ayozayozezza abakozi olw’obuwanguzi buno , neyayama nti Cbs yakwongera amaanyi mu byekola okusitula omutindo.
Ssenkulu wa BBS Terefayina Omukungu Engneer Patrick Ssembajjo abategese emikolo gy’ennyimba z’amazaalibwa ez’omwaka guno 2024 yeyabazizza Obwakabaka olw’okubesiga nabaweebwa obuvunaanyizibwa okuweereza.
Ku mukolo guno abawereza abasukulumye mu kukola emirimu baweereddwa engule ezibasiima , mu basimiddwa kubaddeko , Suubi Jingo Geoffrey owa CBS, Nakayiza Sarah okuva mu Buganda Land Board , Rashida Nabulya okuva mu Werinde Insurance , Nansubuga Joan Grace okuva mu Kabaka Foundation,Kitenda willy wa Namulondo Investment nabalala.

Omukolo guno gwetabiddwako ba Minister ba Kabaka, Omukubiriza w’olukiiko lwa Bataka Namwama Augustine Kizito Mutumba , Ssabasumba waba Authodox Yolonimus Muzeeyi Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitoleeko n’abantu abalala bangi.
Buganda royal Institute yegenda okutegeka chrismas carols z’omwaka ogujja 2025.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius