Munnamateeka Isaac Ssemakadde awangudde ekifo kya President w’ekibiina ekitaba banna mateeka mu ggwanga ekya Uganda Law Society.
Okulonda kuno okwakaasammeeme kubadde Munyonyo ku Speke Resort hotel.
Ssemakadde afunye obululu 2,101 ate Isaac Atukunda bwebabadde bavuganya afunye 898.
Anthony Asiimwe alondeddwa ku kifo ky’obumyuka.
Ssemakadde wakukulembera Uganda Law Society ku kisanja kya myaka 2, (2024-2026), ea azze mu bigere bya Benard Oundo.
#