Eggwanga lya Iran lirangiridde ennaku 5 ez’okukungubagira abadde President wabwe Ebrahimi Raisi eyafiiridde mu kabenje k’ennyonyi.
President Raisi yabadde ne Minister w’ensonga z’amawanga amalala Hossein Amir Abdollahian awamu ne minister ow’eby’enguudo n’okukulakulanya ebibuga Mehrdad Bazrpash.
Ebrahimi Raisi asikiddwa Mohammad Mokhber abadde omumyuka we ate ye Hossein Abdollahian asikiddwa Ali Bagheri amanyikiddwa okulemberamu entesaganya ku nkaayana ezikwata za Nuclear.
Okufa kwa President ne Minisita we nsonga za mawanga amalala kirese eggwanga eryo mu kaseera akazibu naddala olw’enkaayana eziri mu kitundu kya Middle East.
Iran ggwanga lyotayinza kwawula ku nsonga zo lutalo oluyinda mu Gaza, era nga munywanyi nnyo wa Syria, Yemen ne Lebanon.
Iran mu ngeri yemu erina empalana y’amaanyi ne Saudi Arabia, nga Iran yekulira ekiwayi kya ba Shia mu Busiramu ate Saudi Arabia n’ekulira aba Sunni abasinga obungi mu Busiramu.
Iran egudde ku kibambulira ky’okufiirwa abakulembeze abo era erina okusika omuguwa n’abazungu olwe nkola yaayo ey’amasanyalaze ga Nuclear, nga waliwo okutya nti essaawa yonna yandifuna obusobozi obukola ekyokulwanyisa ekya Nuclear.
Ebrahimi Raisi kigambibwa nti yomu ku ba nalukalala abaali bakulembedde Iran, era nga abadde omu ku batunuuliddwa okudda mu bigere byo mukulembeze owo ku ntikko Ayatollah Ali Khamenei.
Raisi abadde mumyuka w’akakiiko ka bantu 88 abalonda Ayatollah addako.
Akakiiko ako akabantu 88 kabeera k’abakugu abamaanyi mu ddiini ey’obusiraamu era Iran efugibwa ku mateeka ga Busiraamu, oluusi ekigiretedde okulumirizibwa okulinyirira edembe lyo buntu na ddala ku nsonga za bakyala.
Okunoonyereza ku bubenje bw’ennyonyi Nnamunkanga tekutera kubeera kwangu, nga bwekiri ku nnyonyi nnene zi lugogoma ezibaako akuuma akakwata amaloboozi akamanyikiddwa nga black box, ate nga ne bifaananyi biraga nti akabenje wekaagudde embeera y’obudde nti yabadde etabanguse.#
Bisakiddwa: Lukyamuzi Joseph