Inebantu Jovia Mutesi asabye abantu ba Kyabazinga okwongera okukolera awamu okusobola okuyirizaawo amaka gaabwe, nokulakulanya Busoga.
Maama wa Busoga Jovia Mutesi bino abyogeredde kukijjulo makeke ekisookedde ddala kyategekedde abantu ba Kyabazinga mu Lubiri e Igenge mu Jinia City.
Agambye nti bwebanaakwasiza awamu tewali kiggya kulema.
Kyabazinga wa Busoga William Gabula Nadiope IV yagattibwa ne Inhebantu Jovia Mutesi mu bufumbo obutukuvu nga 18 November,2023, ku mbaga eyali eyebyafaayo, okuva olwo Inhebantu abadde taddangamu kulabika mulujjudde.
Inhebantu zeemu okulabika ku kijjulo kyategekedde obusoga, era ng’akoze emirimu egyenjawulo, omubadde okubyala ebikata, okuyunja ettooke, okulonda n’okusekula ebinyebwa n’emirimu emirala.
Katuukiro wa Busoga Dr. joseph Muvawala asabye abalina ku ttaka bagende e Bugembe ku kitebe bafune emiti basimbe, olw’okukuuma obutonde.
Ssenkulu w’ekitongole kya KCCA Dorothy Kisaka era nga yakulembera ekibiina ky’abakyaala abasoga abavuddeyo okukwasiza ku Inebantu okuzimba obusoga, ekya Neyendeire group, agambye nti balina entegeka nnyingi zebazimba ezigendereddwamu okusitula abantu mu Busoga.
Bisakiddwa: Kirabira Fred