Enteekateeka zigenda mu maaso ez’okwanjula Inhebantu wa Busoga Jovia Mutesi eri Olukiiko lwa Busoga n’abolulyo olulangira.
Ekiri mu Bwakyabazinga bwa Busoga ssanyu ssa; oluvannyuma lwa Kyabazinga wa Busoga Isebantu Edward William Khadumbula Gabula Nadiope IV, afunidde Obusoga Inhebantu.
Ku ssaawa 10 ez’olweggulo nga 07 september,2023: Katuukiro wa Busoga Dr. Joseph Muvawala, nga asinziira ku kitebe ky’Obwakyabazinga e Bugembe mu Jinja, lweyayanjulidde Obusoga Ihnebantu Mutesi Jovia.
Amawulire gano galindiriddwa okuva mu 2014 Nadiope lwe yatuuzibwa ku bwa Kyabazinga, era embaga esuubirwa okubaawo nga 18 November,2023 mu Lutikko e Bugembe.
Dr.Muvawala akikkaatirizza nti ennono yonna yagobereddwa mu kunoonya Inhebantu, era Jovia Mutesi enzaalwa y’e Mayuge, ava mu kika kya Bunha.
Inebantu Mutesi Jovia muwala wa RDC we Bulambuli era eyaliko sentebe wa Mayuge Town council Stanley Bayoole.
Inebantu alina degree eya Bachelor of Arts in Economics okuva ku ssettendekero lya Makerere University.
Amawulire gano gatuukidde mu kiseera nga Obusoga bwetegekera emikolo egy’okujjukira Amatikkira ga Kyabazinga ag’omulundi ogwa 9, aganaakwatibwa kulwokusatu nga 13 September,2023 mu bitundu by’e Kigulu.#
Bisakiddwa: Kirabira Fred