Wofiisi ya Kaliisoliiso wa government aweereddwa emyezi esatu gyokka, anoonyereze nsimbi nevvulugu yenna eyetobese mu nteekateeka y’okunonyereza n’okukola eddagala eriwonya ekirwadde kya Covid19, eryawomwamu omutwe minister wa science ne technology Dr.Monica Musenero.
Akakiiko ka parliament akaali kanonyereza ku nsonga zino, mu alipoota yaako gyekaayanjulira parliament wiiki ewedde, kakizuula nti ekitongole ki PRESIDE ekyakwasibw omulimu ogwo tekirina tteeka lyonna mwekikolera.
Ekitongole kya PRESIDE tekirina mbalirira yonna ey’ensimbi ezizze zikiweebwa okuva mu government, songa n’abakozi abamu kubbo baaluganda lwa Dr Musenero.
Akakiiko era kakizuula nti ekitongole ki PRESIDE ensimbi zekifuna, Dr. musenero yeyamanyanga yekka engeri bwezisaasaanyizibwa, ng’omukulembeze waakyo ate nga muwabuzi w’omukulembeze weggwanga ku ndwadde enkambwe.
Akakiiko kano kaasaba parliament eragire ekitongole kino ki PRESIDE kijjibweewo, emirimu gyakyo gisindiikibwe mu kitongole ky’eggwanga ekinonyereza ki National Research and Innovation.
Parliament enkya yaleero, ekubaganyiza ebirowoozo ku alipoota eno, abamu ku babaka okubadde Asuman Basalirwa owa Bugiri Municipality, Geofrey Ekanya owa Tororo North, webasabidde parliament eragire kaliisoliiso wa gavument enonyereze ku nsimbi zino, nenkola yemirimu gyonna egikolebwa mu kukola eddagala lya Covid 19.
Ababaka abalala okubadde Sarah Opendi omubaka omukyala owa district ye Tororo nabalala basabye nti Dr Monica Musenero yettike omugugu avunaanibwe olwa vvulugu anokodwaayo mu alipoota avunaanibwe kubanga yakulira ekitongole era yavunaanyibwa ne ku sente ezikiwebwa.
Akulira Oludda oluvuganya government mu parliament Mathias Mpuuga Nsamba awabudde parliament nti eyimirize ensimbi ezibadde zigenda okuteekebwa mu kunonyereza n’okukola eddagala eryogerwako.
Mu mwaka ogujja 2022/2023 enteekateeka eno eriko omutemwa.ogwassibwawo mu kunoonyereza ku ddagala lya Covid 19, nagamba nti zigende mu nteekateeka endala , kubanga okusinziira ku vvulugu anokoddwayo nazo zandiriibwa ng’ezo ezaasooka.
Dr. Musenero abuulidde palament nti emyaka mingi azze alwanagana n’endwadde enkambwe, okuli Ebola, Marburg, Cholera, Hepatitis ne Yellow fever nendala, nagamba nti ssikirungi okumuliisa sente kubanga bimwononedde nnyo erinnya.
Yetonze nasaba nti bwaba alina gweyanyiiza mu nkola ye ey’emirimu, bamusonyiwe naye wakugenda mu maaso okutumbula science n’obuyiiya.
Omubaka Yonna Musinguzi eyali yalaalika nti wakwanjula ekiteeso , minister Musenero agobwe ,talabiseeko n’ekiteeso kye tekyanjuddwa.
Omumyuka ow’okusatu owa Ssaabaminister w’eggwanga Hajjat Rukiya Nakadaama, kulwa government agambye nti bagenda kwetegereza alipoota eno, ebinaaba bisaliddwawo bijja kutegeezebwa parliament.