Eyaliko captain wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes, Ibrahim Ssekagya, alondedwa ng’omutendesi omugya owa club ya New York Red Bulls II, egucangira mu liigi y’ekibinja eky’okusatu ekya Major League Soccer Next Pro mu America.
Ibrahim Ssekagya afuuse omutendesi ow’okusatu okutendeka club eno mu byafaayo byayo, azze mu bigere bya Gary Lewis eyagobwa ku mulimu guno mu July omwaka oguwedde 2022.
Ibrahim Ssekagya mu kiseera kino abadde akolanga omutendesi ow’ekiseera okuva mu mwezi ogw’omusanvu omwaka oguwedde, era nga yegatta ku club eno mu 2015 nga annyuse okucanga endiba.
Mu Uganda Ssekagya yazanyirako club ya KCCA mu 1992 olwo n’agenda emitala wa mayanja mu 1998 mu Argentina.
Mu 2007 yegatta ku club ya Red Bull Salzburg eya Austria, mu 2013 yegatta ku club ya New York Red Bulls okumala season, era nanyuka omupiira mu 2015.
Uganda Cranes yagizanyira okuva mu 1999 okutuuka 2011 nga yaleka azannye emipiira 35.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe