Abazannyi ba Badminton, Husinah Kobugabe ne Gladys Mbabazi, bawangulidde Uganda omudaali gwa zaabu mu mpaka za All Africa Games eziyindira mu Ghana.
Omudaali guno baguwangudde mu muteeko ogwa Women Doubles, era okutuuka ku buwanguzi bakubye bannansi ba Algeria obugoba 2-0.
Round esoose Uganda egiwangudde n’obubonero 23-21 ate round ey’okubiri era Uganda egiwangudde n’obubonero 21-14.
Abazannyi Husinah Kobugabe ne Gladys Mbabazi bawangulidde Uganda omudaali gwa zaabu ogusookedde ddala mu muzannyo gwa Badminton mu mpaka za All Africa Games.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe