Henry Hillary Ssentoogo munna Uganda abadde omukugu mu kukuba plan z’ebizimbe eby’amaanyi mu ggwanga, n’amawanga amalala afiiridde ku myaka 86.
Katikkiro wa Buganda eyawummula munnarotary Owek. JB Walusimbi abadde mukwano gwe, agambye nti omugenzi abadde amaze akaseera ng’atawanyiizibwa obulwadde, era olumbe lukumiddwa mu makage e Lubowa.
Ebimu ku bizimbe byakubidde plan kuliko amaka ga president e Ntebe, Sheraton hotel,bank of Uganda, Workers House, Christ the King Church, Communications house n’ebirala.
Ssentoogo abadde munna Rotary.
Abadde nnyini kampuni ekuba plan z’ebizimbe eya Ssentoogo and partners.
Yeyasooka okubeera president wa African Union of Architects mu mwaka gwa 1981.
Yalik omumyuka wa president wa Common wealth association of Architects.#