Club y’omuzannyo gwa Rugby eya Heathens esitukidde mu liigi ya babinywera eya Rugby Premier League omulundi gwayo ogwe 16 ,nga tekubiddwamu.
Heathens okutuuka ku kkula lino esembyeyo kukuba club ya Kobs, eyawangula liigi ya 2021.
Egikubye obugoba 22 – 10 mu kisaawe kya Legends e Lugogo mu Kampala, newangula ekikopo ku bugoba 87.
Ekikopo kibakwasiddwa ssentebe wa National Council of Sports, Ambrose Tashobya.
Club ya Pirates ekutte ekifo kyakubiri n’obubonero 77.
Kobs ekutte ekifo kyakusatu n’obubonero 72.
Club ya Warriors yesembyeyo mu kibinja kino ekya club 10, esaliddwako neddayo mu kibinja kya wansi.
Warriors omwaka guno eyisiddwa bubi ddala, nga mu mizannyo 18 ewanguddeyo omuzannyo gumu gwokka.
Emizannyo emirala egigaddewo liigi eno Pirates ekubye Rams obugoba 29 – 6.
Impis eremaganye ne Buffaloes obugoba 13 – 13.
Hippos ekubye Warriors obugoba 20 – 13.
Rhinos ekubye Mongers obugoba 22 – 21.
Tiimu za Rugby nga bwezizze ziwangula ekikopo okuva mu 1990, era Heathens yesinga ebikopo.
1990 – KOBs
1991 – Heathens
1992 – Heathens
1993 – Heathens
1994 – liigi yayimiriramu.
1995 – KOBs
1996 – Impis
1997 – KOBs
1998 – KOBs
1999 – KOBs
2000 – KOBs
2001 – KOBs
2002 – Heathens
2003 – KOBs
2004 – Heathens
2005 – Heathens
2006 – KOBs
2007 – KOBs
2008 – KOBs
2009 – Heathens
2010 – Heathens
2011 – Heathens
2012 – Heathens
2013 – Heathens
2014 – KOBs
2015 – Heathens
2016 – KOBs
2017 – Heathens
2018 – Pirates
2019 – Heathens
2020 – Heathens
2021 – KOBs
2022 – Heathens
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe