Wabaddewo vvaawo mpitewo mu kakiiko ka Parliament ak’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi ku nsonga y’omusolo oguwoozebwa ku kkiro y’ennuuni y’empuuta.
Abasuubuzi b’ennuuni beekubira enduulu nga baagala omusolo ogubawoozebwako ku buli kkiro gukendeezebwe okuva ku bitundu munaana ku buli kikumi, gudde waakiri ku bitundu bibiri ku buli kikumi.
Abamu ku ba minister abavunaanyizibwa ku by’ensimbi basimbye ne nnakakongo okuwakanya okusaba kw’abasuubuzi nti kino tekisoboka kubanga nabo ennuuni bagijjamu ensimbi ezitagambika, nga kkiro emu bweti egula ensimbi obukadde 3,700,000/=.
Ba minister okuli Nobert Mao ow’essiga eddamuzi ne Ssemateeka, Hon. Henry Musaasizi minister omubeezi ow’okuteekerateekera eggwanga, ne Minsiter Francis Mwebesa omubeezi ow’ebyobusuubuzi.
Mu kakiiko kano akakulirwa Hon Okori-Noe, ba minister bagambye nti abasuubuzi kyebaasaba tekijja kusoboka kubanga ne government awo wokka weefuniramu ku mpuuta.#