Ministry y’ebyokwerinda egambye nti terina alipoota yonna gyeyali afunye nti amagye geenyigira mu buvubi nga bwebize biwulirwa.
Ebitundu okuli Mukono, Buvuma, Buikwe, Masaka nebirala ebirina ennyanja ,abavubi baze bawulirwaako nga bemulugunya nti amagye tegakoma ku kwenyigira mu buvubi, wabula n’obusuubuzi bw’ebyennyanja gabwenyigiramu butereevu.
Mathias Mpuuga Nsamba akulira oludda oluvuganya government azze ekyogera lunye mu kulambula kwaliko okwetoloola eggwanga, nti afunye obujulizi obumala obulaga nti amagye genyigira butereevu mu buvubi nobusuhbuzi bw’ebyennyanja.
Wabula minister omubeezi ow’ebyokwerinda Jacob Oboth Oboth agambye nti tebalina alipoota yonna gyebaali bafunye ku nsonga eno, era nasaba nti yenna alina obujjulizi ku nsonga eno abutwale eri ministry y’ebyokwerinda babutunulemu.
Minister Oboth Oboth bwabuuziddwa ku kiseera amagye lwegagenda okuva ku nnyanja ,agambye nti government tenakirambika mu nteekateeka zaayo.
Gyebuvuddeko parliament yayisa etteeka erirungamya eby’obuvubi mu ggwanga, era obuyinza bwokulwanyisa envuba embi nebukwasa police, mu kiseera kino obukyaddukanyibwa amagye ga UPDF.