Emirambo gy’abayizi 7 abaayokebwa omuliro ku ssomero lya Mpondwe Lhubiriha SS mu district ye Kaseese n’okutuusa kati babuliddwako abenganda zabwe, government esazeewo ebaziike.
Ku ntandikwa y’omwezi gwa June 2023, abagambibwa okubeera abayeekera ba ADF baalumba essomero eryo netirimbula abayizi abasoba mu 40.
Abayizi abamu babatematema naddala abawala, so ng’abalenzi abaali besibidde mu kisulo, abajambula babakubako bbomu nebakuba nebasiriiza.
Kigambibwa nti waliwo n’abayizi abaawambibwa nebayingizibwa mu Democratic Republic of Congo.
Mu kiseera kino abayizi abasinga obumu baaziikibwa oluvannyuma lw’okukeberebwa endagamuntu n’aboluganda, wabula 7 bakyabuliddwako abaabwe.
Minister omubeezi owa Technology ne ICTGodfrey Kabyanga agamba nti bagenda kuddamu okwekebejjaa emirambo 7 nga baggya n’abenganda ezenjawulo bagibweko endagabutonde.
Agambye nti singa ebivaamu birema okulaga bannyini gyo abatuufu, government yakwezza obuvunaanyizibwa bw’okugiziika.
Bisakiddwa: Nakato Janefer