Olukiiko lwaba minister lwayisizza obukadde bwa shs 340, ziweebwe abantu abaakosebwa kasasiro w’e Kiteezi eyabumbulukuka n’aziika enju zabwe, n’abantu abasoba mu 35 nebafiiramu.
Ssaabaminister wa Uganda Robinah Nabbanja agambye nti abantu bonna abaakosebwa kasasiro e Kiteezi bagenda kuweebwa obukadde bwa shs 2, bagende baseenge ewalala.
Ssaabaminister agambye nti ensimbi zino zigenderedde okukwasizaako abantu bano okufuna gyebapangisa bave mu nkambi eyakubwa ku ssomero eririranyeewo, esobole okuggalwawo.
Amaka 170 gegaabaliriddwa okuweebwa ensimbi zino obukadde 2, omuli abaali bapangisa n’abaalinako amayumba gabwe ag’obwannanyini.
Oluvannyuma bannyini mayumba nga bamaze okubalirirwa ebbeeyi y’enju zabwe.m olwo nabo balyoke basasulwe ensimbi ezizijaamu.
Mukusooka, government yawaayo obukadde bwa shs 5, eri buli muntu eyafiira mu njega eyo (35 bebazuulwa) neziweebwa ab’oluganda, wabula nga waliwo abalala abateeberezebwa okuba nga baaziikibwa kasasiro nebabulira ddala.#